Paasita Patience Rwabwogo akulira akkanisa ya Convenant Nations church era nga muwala wa Pulezidenti Museveni, akubirizza ekkanisa okuva mu kulera engalo beenyigire mu mirimu egivaamu ensimbi.
Era asabye abakulembeze okuyigiriza abagoberezi baabwe naddala abavubuka okukola. Kino agamba kijjakuyamba ekkanisa ya Kristu okukula n’okweyimirizaawo.
Patience agamba nti ebbanga ddene ng’ekkanisa esabiriza obuyambi okuva mu mawanga naddala ag’Abazungu ky’agamba nti kirina okukoma. Yagambye nti akakasa nga Africa erina obusobozi okubeera ennimiro eriisa ensi yonna.
Wabula, kino kisobola okutuukibwako singa abantu bonna naddala ekkanisa bava mu kulera engalo ne bakola.

Paasita Patience (Owookubiri okuva ku kkono) ng'ali wamu ne ffamire ya Mayonza, akulira PCFR mu Uganda
Yayongeddeko nti ekkanisa ekulira ku sipiidi ya kizungirizi ate esingamu abavubuka abali wakati wa myaka 18-35. Gino nno gy’emyaka omuntu yenna w’alina okukolera ennyo kubanga abeera n’amaanyi. Yasoomoozezza abasumba n’abakulembeze b’ekkanisa obuteemalira ku kulyowa myoyo wabula bakubirize abavubuka okukola.
Bino Patience yabyogeredde ku mukolo gw’okwebaza n’okusonderako ensimbi z’okugulira ettaka ekitongole kya Pilgrim Center for Reconciliation Uganda (PCRUG). Ekitongole kino kiyamba okutabaganya abantu abasoowaganye, okubudaabuda abali mu ntalo n’okulabirira abatalina mwasirizi.
PCFR kiri mu mawanga ag’enjawulo omuli ne Uganda nga kyatandikibwawo Abamerika; Rev. Dr. Arthur ne Molly Rouner. Bano Patience yabatanderezza okubeera abeekisa era abafaayo ennyo ku balala. Yabasisinkana ng’asoma mu Amerika era okuva olwo bazze bayamba bamulekwa abali mu kitongole kya Uganda Women's Effort to Save Orphans (UWESO) ekyatandikibwawo nnyina, Janet Museveni.
Ebyo ng’obitadde ku bbali, omukolo gw’okwebaza gwabadde ku Convenant Nations church ku Lwomukaaga oluwedde nga gwetabiddwaako abantu abaasusse mu 150 era gwagenze okuggwa ng’obukadde 58 bwe busondeddwa.

Paasita Patience (Owookubiri okuva ku kkono) ng'ali wamu ne ffamire ya Mayonza, akulira PCFR mu Uganda
Bob Mayonza akulira ekitongole kino mu Uganda agamba nti mu myaka omusanvu gyebabadde mu Uganda, baakayamba abantu abasukka mu 3,000. Wabula bafuna okusoomoozebwa mu byenfuna kwe kusalawo bagule ettaka, yiika 12 basobole okulimirako emmwaanyi n’ebirala abivaamu ssente. Buli yiika ya bukadde 17. Ekkanisa ya Patience yawaddeyo obukadde 50.
Rev. Dr. Jim Olson, ambasada wa PCFR yakkiriziganyizza ne Patience n’akkaatiriza nti ddala Africa erina obusobozi obuliisa ensi singa ekkanisa esitukiramu n’ekola nga bweweereza ne Katonda. Wabula Olson ng’ali wamu ne Tim Uthman akulira PCFR mu nsi yonna baasabye bannayuganda okusabira ensi yaabwe Amerika okuggwaamu ettemu erikudde ejjembe ensangi zino. Abatemu tebataliza masomero na makanisa.