Omusajja agambibwa okubba ebintu bya ofiisi bamukubye ne bamutta!

Omusajja agambibwa okuba ne banne abalala ne bamenya ofiisi ne babbamu ebintu ebibalirirwa obukadde nga 30 , bamukubye ne bamutta.

Omusajja agambibwa okubba ebintu bya ofiisi bamukubye ne bamutta!
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Kutta #Musajja #Ofiisi #Bantu 2 #Kukuba #Okubba #Ebintu #Byonna

Omusajja agambibwa okuba ne banne abalala ne bamenya ofiisi ne babbamu ebintu ebibalirirwa obukadde nga 30 , bamukubye ne bamutta.

Bibadde ku kyalo Kyondo e Nakeseke, omusajja atannamanyika mannya gwe basanze ng'asitudde omufaliso,  kkompyuta n'ebirala, bwe bamukutte ne bamukuba ne bamutta.

Kigambibwa nti bino, bye bimu ku bintu ebyabbiddwa okuva mu emu ku ofiisi mu kitundu ekyo abantu kwe kumukwata ne batandika okumubuuza wa gy'abadde abiggye n'alemwa okubannyonnyola ne bamukuba ne bamutta.

Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima, ateegezezza nti , okunoonyereza kugenda mu maaso.