Lutikko y’e Namirembe yawuumye n’epiipa ng’emigogo gy’abagole 50 egigattibwa mu bufumbo obutukuvu mu mbaga ey’awamu.
Zigenze okuweera ssaawa 2:00 ez’okumakya leero ng’abagole bamaze okukkalira mu ntebe zaabwe.
Nnamungi w'omuntu eyeeyiye ku lutikko nga bagatta abagole.
Abagole omwami n’omukyala buli mugogo gwakkiriziddwa okujja n’emperekeze zaagwo n'abazadde okubaawo nga abajulizi.
Omulabirizi w’e Namirembe Moses Banja ye yakuliddemu okugatta kuno nga yabadde ayambibwako abaweereza abalala.
Bakira abagole bakuba ebirayiro era buli omu yabadde abikubira mu lulimi lw’ategeera. Wadde baabadde babikubira mu nnimi zaabwe, tewaabuzeewo batamwatamwa n’okulya ebigambo nga kino kyandiba nga kyavudde ku nnamungi w’omuntu eyabadde ajjudde mu lutikko eyabatiisizza.
Bp. Banja ng'agatta ogumu ku migogo gy'abagole egibaddeyo
Omulabirizi Banja, yayogedde ku kitiibwa ky’obufumbo obutukuvu era n’ayozaayoza abaagattiddwa wabula n’abakuutira okukuuma ebirayiro bye baakubye.
Enteekateeka z’embaga z'omulundi guno zaawomeddwamu omutwe ebitongole bye kkanisa eby’enjawulo ebyakulembwddwa Father's Union , mother's union n’ekya bakazi abakrsitaayo ekya CWF.
Abagole oluvannyuma lw'okugattibwa.
Obulabirizi bw’e Namirembe bwakoze ku buli kimu okwabadde okwambala, ssaluuni, okutimba ,okulya n’ebirala.
Oluvannyuma lw’okugattibwa abagole abamu baagenze mu bifo gye baabadde bategekedde okusembereza abagenyi baabwe ate abalala ne beetaba ku kijjulo eky’awamu ekyategekeddwa Obulabirizi mu bimuli bya lutikko we baasalidde ne kkeeki eya wamu.
Wano nga bafukamidde okubasabira.
Embaga eno ekolebwa buli mwaka nga guno gwe mulundi ogwa 20 era embaga zino ze zikulemberamu olukung’aana lw’enjiri ggaggadde olwa buli mwaka.
Olw’omwaka guno lugenda kubeerawo ku Ssande eno nga September 21, 2025 mu bimuli bya lutikko e Namirembe.
Olukungaana lw’enjiri luno olwa Namirembe Diocesan Convention 2025, lugenda kutandika ku ssaawa 1:00 ey’okumakya.
Ababuulizi b’enjiri okuli Omulabirizi w’e Namirembe Moses Banja, Omulabirizi wa Central Busoga Patrick Wakula, ddiini wa lutikko y' e Namirembe Rev. Can.Dustan Kiwanuka Mazinga, Rev. Stephen Lumu Lwasi akulira eby’okubuulira enjiri mu Bulabirizi bw’e Namirembe, Rev Grace Kavuma amyuka akulira ekitongole ekibuulizi ky’enjiri e Namirembe n’abalala bagenda kubaayo.