Poliisi efulumizza amannya g'abantu Omusanvu, abaafiridde mu lyato bwe lyebbise mu Lake Kyoga.
Akabenje kano, kaabaddewo ku ssaawa nga ttaano ku Lwokuna ku makya , abantu 36 bwe baabadde ku lyato okumpi n'e kyalo Kiryanga mu muluka gw Kiryanga mu Ggombolola ya Acii mu disitulikiti ye Amolatar nga bagenda okuziika.
Abantu 7 baafudde ate abalala 29 ne bataasibwa era ng'abaafudde, kuliko Steven Odeke 65 ssentebe wa LC 1 e Muchora Abino A, Catherine Aguti 55 ow'e Okwalongen e Dokolo, ne Sylvia Abonyo 35 ow' Amuda e Soroti.
Abalala abafuddde, kuliko Jasper Ogwal 38 ow'e Corner Bileo Amolatar, Robina Ejang 30 w'e Alemere Bung cell, Semmy Agwech 20 okuva e Etam n'omusajja omulala atannategeerekeka, bimukwatako.