Balaze essanyu eri Bannayuganda 6 abaaweereddwa emidaali e Bungereza

ABANTU 6 okuva mu Uganda bawangudde omudaali ogumamanyiddwa nga World Book of Records.

Kisanja (ataddeko jaketi) ng’ayanirizibwa abawagizi be oluvannyuma lw’okuwangula omudaali e Bungereza.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU 6 okuva mu Uganda bawangudde omudaali ogumamanyiddwa nga World Book of Records.
Abaawangudde kuliko; minisita Ruth Nankabirwa, omuwabuzi wa Pulezidenti ku
nsonga z’ebyobulimi, Dr. Hillary Musoke Kisanja, omumyuka waKatikkiro wa Uganda asooka, Rebecca Kadaga, omumyuka wa gavana wa bbanka enkulu, Polof. Augustus Nuwagaba, Col. Edith Nakalema ne Nelson Tugume akulira Inspire Africa. Ku Lwomukaaga, Dr. Kisanja  yakomyewo okuva e Bungereza gye baamukwasirizza omudaali guno mu palamenti yaayo mu kibuga Westminster. Baagumukwasizza nga September 13,
2025.
Ku kisaawe e Ntebe yayaniriziddwa abantu ab’enjawulo n’ategeeza nti omudaali guno
okuguwangula kivudde ku mirimu egyamukwasibwa omukulembeze w’eggwanga okuli;
okuyamba abavubuka b’omu Ghetto n’abakyala okwekulaakulanya n’okuyigiriza abantu
ennima ennungi ku ttaka eddene.
Yagambye nti engule waakujanjulira omukulembeze w’eggwanga kubanga ye yamuwa omulimu guno