Poliisi eyodde 76 ku by'okumenya amateeka mu Lugazi

Ekikwekweto kino, kikoleddwa e Lugazi mu tawuni era abakwatiddwa, bakuumirwa ku poliisi eyo ng'okubasunsulamu bwe kugenda mu maaso.

Poliisi eyodde 76 ku by'okumenya amateeka mu Lugazi
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Poliisi #Lugazi #Mateeka #Kumenya #76

ABANTU 76 abagambibwa okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka obw'enjawulo, bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi e Lugazi.

Ekikwekweto kino, kikoleddwa e Lugazi mu tawuni era abakwatiddwa, bakuumirwa ku poliisi eyo ng'okubasunsulamu bwe kugenda mu maaso.

Kino kiddiridde okwemulugunya kw'abatuuze n'abasuubuzi ku bubbi obuyitiridde mu kitundu, omuli okuteega abakeera ennyo kumakya n'abatambula ekiro ne babanyagako obusawo n'amasimu, n'okumenya amayumba.

Kigambibwa nti era bangi, beenyigira mu kunywa enjagala n'okukozesa ebiragalalagala mu bifo ebimu , gye bava ne balumba abantu ne babatulugunya.

Omuduumizi wa poliisi mu kitundu kya Ssezzibwa, Jaffar Magyezi, akakasizza okukwatibwa kw'abantu bano, n'agattako nti ekikwekweto, kikoleddwa mu kiro ekikeesezza leero.