Akulira akakiiko ak'ebyokulonda , Simon Byabakama alangiridde Yoweri Kaguta Museveni ng'eyeesimbyewo ku bwa Pulezidenti oluvannyuma lw'okutuukiriza ebisaanyizo byonna ebyamusabibwa.
Pulezidenti Museveni ng'atuuse ku kakiiko k'ebyokulonda
Museveni ng'atuuse ku kitebe ky'akakiiko k'ebyokulonda
Museveni atuuse ku ssaawa 3:50 ng'ali ne Maama Janet Museveni.
Ayaniriziddwa Sipiika Annet Among, omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa,Rebecca Kadaga, Jim Muhwezi ne Godfrey Kiwanda. Abalala abaabadde balina okumwaniriza abaggyidde mu bbaasi ye yabaanirizza okwabadde Katikkiro Robinah Nabbanja, Alhaji Moses Kigongo n'abakungu ba NRM abalala