UGANDA yeegasse ku nsi yonna okujaguza olunaku lw'ebisodde (gorillas) era nga ebijaguzo ebikulu bibadde Ruhija mu disitulikiti y'e Kanungu awasangibwa ekkuumiro lye bisolo by'omunsiko erimanyiddwa nga Bwindi impenetrable National Park.
Abamu ku balambuzi nga balaba amazike mu Kkuumiro lya Bwindi e Kanungu.
Mu ngeri eyo, bano baasoose na kuyonja bitundu mwebawangaalira. Nga bakwasaganyizibwako ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma ebisolo by'omunsiko ekya Uganda Wildlife Authority (UWA), balambudde ebimu ku bisodde ebisangibwa mu kkuumiro lino.

Abazinyi nga absanyusa abalambuzi
Asembyeyo ng'akubira gavumenti omulanga okukola enguudo okuli ezitwala abalambuzi mu makuumiro g'ebisodde okuli Bwindi ne Mgahinga.

Abalambuzi nga bakola ebintu eby'enjawulo
Akulira Uganda Tourism Board (UTB) Juliana Kagwa agambye nti olunaku luno lukulu nnyo kubanga Uganda y'esinga okubeera n'obungi bw'ebisodde mu nsi yonna. Ono ayongeddeko nti ekitongole ky'akulira ekya UTB, kigenda kwongera okusikiriza abalambuzi okwettanira okujja mu Uganda balambule ebisodde n'ensolo endala ez'omunsiko.