OMUSUMBA Samuel Kajoba bw’atandika okubuulira enjiri n’ababadde ku byabwe bavaayo ne bamutegera okutu. Oba ali ku kkanisa, oba ku mbaga, kuziika oba olukung’aana lwonna, bw’akwata akazindaalo abamuwuliriza abaleka bafa nseko.
Engeri gy’atobekamu enjiri n’obulamu obwabulijjo nga kw’atadde n’eby’okulabirako ebya ddala, sitayiro eno emufudde omubuulizi ow’enjawulo.
Emyaka munaana gy’amaze ng’Omulabirizi wa Central Uganda Conference (Obulabirizi obutwala ettundutundu lya Buganda), Kajoba akutte ku mitima gy’abantu era enjiri ye esala okuva mu Badiventi n’edda ku b’eddiini endala ssaako n’abo abatalina ddiini nga bonna bamunyumirwa.
Obubaka bwe busaasaanidde nnyo emikutu emigattabantu okuli; Tiktok n’emirala era wadde Kajoba amanyiddwa mu bantu n’abatali Baadiventi n’emikutu gya yintaneeti nga Tik Tok n’emirala gimwongedde okufuuka ow’ettutumu.
Ono ye yalondebwa ku bwa Ssaabalabirizi nga August 26, 2025 mu lukung’aana lwa East-Central Africa Division (ECD) olwatuula mu kibuga Nairobi ekya Kenya.
Mu lukung’aana lwe lumu, ba Ssaabalabirizi b’amawanga amalala 10 nabo baalondebwa. Ku gano kwaliko: Burundi, Democratic Republic of the Congo, Djibouti, Eritrea, Ethiopia, Kenya, Rwanda, Somalia, South Sudan and Tanzania.
Okulondebwa kwa Kajoba kwaddirira Pr. Moses Maka eyali Ssaabalabirizi wa Uganda okulondebwa ku kya Ssaabawandiisi wa East-Central Africa Division (ECD) ku kulonda kw’ekkanisa y’Abativenti mu nsi yonna okwaliwo mu St. Louis in USA okudda mu kifo kya Pr. Dr. Blasius Ruguri eyawummula.
Pr. Kajoba agenda okuweereza nga Ssaabalabirizi w’ekkanisa y’Abativenti okumala emyaka etaano (2025-2030). Yalondeddwa n’abaweereza abalala babiri okuli; Pr. Dr. Nicholas Bitamazire ng’omuwandiisi w’ekkanisa n’Omukadde w’ekkanisa Isaac Lyadda eyazze mu kifo kya Pr. Frank Kiggundu eyawummudde.
Engeri gy’abuuliramu enjiri n’akwata abantu omubabiro
PR. KAJOBA AKOZESA OLULIMI OLWANGU OKUTEGEERWA
Ayogerwako abangi ng’omubuulizi w’enjiri amanyi okukwatagana n’abagoberezi, Pr. Kajoba akozesa eby’okulabirako ebyabulijjo, emboozi ezikwatagana n’ekiriwo n’olulimi olwangu okukakasa ng’abantu okuva mu nsonda ez’enjawulo bategeera.
“Pr. Kajoba mubuulizi mulungi era assa obulamu mu kubuulira enjiri n’okwagala, okwewaayo n’obumalirivu. Yajjula Omwoyo era alina emirandira gy’ekigambo kya Katonda ekifuula enjiri okusukka ku kigambo wabula obujulizi obukwata ku mitima n’okusitula emyoyo egibuze n’okusomerwa,” omu ku ba paasita abakulu bw’agamba.
OLUNYIRIRI PR. KAJOBA KWE YEEKWATA
Pr. Kajoba agamba nti, olunyiriri lwa bayibuli kwe yeekwata lwa Timuseewo ekisooka 1:12. Lugamba nti : Nneebaza Yesu Kristo omulokozi waffe, ampadde amaanyi, okundaba nga ndi mwesigwa n’annonda okumuweereza.
“Olunyiriri luno lumpa obukakafu nti, Katonda awa omuntu yenna obusobozi okuweereza ku ddaala erya waggulu. Kino ky’ekimpa amaanyi okusigala nga ntambula,” Pr. Kajoba abadde yaakaweereza ng’Omulabirizi wa Central Uganda emyaka munaana egiyise bw’agamba.
Annyonnyola nti, olukiiko olutwala ekkanisa olw’ensi yonna lwamala okuyisa enteekateeka ya myaka etaano ng’okubunyisa enjiri ky’ekikulembera. Ekitwetaagisa kwe kussa enteekateeka eno mu nkola ezitujaamu.
“Obabaka bwange eri ekkanisa ya Uganda kwe kukulembeza enjiri. Nkubiriza amatendekero g’ekkanisa ng’amasomero okukulembeza enjiri kuba kwe kuyitibwa kwaffe,” Kajoba bw’agamba.
Pr. Kajoba yawasa mukyalawe Margaret Ndagire Kajoba era balina abaana mukaaga.
EBYAFAAYO BYA PR. SAMUEL KAJOBA
Yazaalibwa Yusuf Kyobe ne Nakazzi Kyobe nga November 6, 1958 e Katikamu leero eyafuuka disitulikiti y’e Wakiso. Yasomera ku Light and Grammar Primary School e Katikamu, gye yatuulira P7 mu 1972. Yasomerako ku Luzira Lakeside College gye yatuulira S4 mu 1994 ne Chwa II Memorial College gye yatuulira S6 mu 1997.
Oluvanyuma yeegatta ku Bugema University gye yafunira diguli esooka mu by’eddiini mu 2000. Yeeyongerayo ku Adventist University of Africa e Nairobi, gye yatikkirwa diguli eyookubiri mu by’eddiini mu 2009.
Mu kukola, yatandika na kusomesa ku Gayaza Light Seventh-day Adventist Primary School mu 1977–1980 n’oluvannyuma n’afuulibwa omumyuka w’omukulu w’essomero ku Namulesa Seventh-day Adventist Primary School (1984–1986).
Obwagazi bwe okutendeka n’okuzimba abavubuka bwamutuusa ku kuweereza ng’Omubuulizi ku ssomero lya Light College Katikamu okuva mu 1987 okutuuka 1996. Oluvannyuma yafuukira ddala omubuulizi e Masuliita n’oluvannyuma n’aweereza e Najjanankumbi mu Kampala (2000–2008).
Ekitone ky’obuweereza mu ye kyalabibwa mangu era n’aweereza mu bifo ebya waggulu okuli; Dayirekita wa Stewardship n’enkulaakulana, mu Central Uganda Conference (2009–2010), Ministerial Director, Uganda Union (2011–2015) ne Omulabirizi wa Central Uganda Conference (2016–2025).
Kajoba yalondebwa ku buweereza bw’ekkanisa mu 2000 oluvannyuma lw’emyaka gy’okuweereza mu bwesimbu n’okubunyisa enjiri. Era yali musaale mu kutumbula eby’obulamu bwe yalondoola omulimu gw’ebyobulamu e Katikamu-Masuliita ne Wakiso wakati wa 1993-96
Engeri gy’azze akulamu mu by’omwoyo
Mu 1993 – 1996 : Kajoba yali alondoola emirimu egikolebwa ab’ebyobulamu e Katikamu mu ggombolola ya Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso.
l Mu 1994 – 1996 :
Yali Ssentebe wa makanisa g’Abadiventi mu Kampala zooni (ekkanisa za disitulikiti 14)
l Mu 1999 : Yalondebwa okubeera omukadde w’ekkanisa
l Yasoma koosi ez’enjawulo ez’obuweereza n’obukulembeze bw’ekkanisa.
l Yeetaba mu misomo n’enkung’aana ez’enjawulo omuli ez’amaka, eby’obulamu, enkulakulana, okweteekerateekera n’endala.
l Ategese enkuungaana z’okusaba ez’enjawulo era n’azimba amakanisa mangi
l Ategese enkung’aana z’okusomesa ku maka ez’enjawulo
l Mu 2000 : Yalondebwa mu buweereza
Alina emyaka 67.
l Mufumbo eri Margret Kajoba n’abaana 6
OBUYIGIRIZE
l Mu 1972, pulayimale yagituulira ku Light And Grammar Primary School, Katikamu.
l Mu 1994, siniya 4 ku Luzira Lakeside College.
l Mu 1997, siniya 6 yagimalira ku Chwa II Memorial College.
l Mu 2000 yafuna diguli mu kumanya ebyawandiikibwa eby’eddiini (Bachelor of Theology (B.Th)) ku Bugema University.
l Mu 2009, yafuna diguli eyookubiri mu Busumba (Master of Arts in Pastoral Theology ) ku Adventist University Of Africa (AUA) mu Nairobi.
EMIRIMU
l Waaberedde Omulabirizi w’Obulabirizi bw’amasekkati ga Uganda, abukulaakulanyizza naddala mu kubuulira enjiri era ne bugaziwa okukkakkana nga muvuddemu Obulabirizi obulala busatu okuli; East Buganda Field, West Buganda ne North Buganda.
l Yaweerezaako ku kitebe (Uganda Union Mision) nga dayirekita w’obuwanika era n’akola ng’Omusumba ku kkanisa ya Najjanankumbi SDA, Masuulita SDA n’awalala.
l Kajoba mubuulizi wa njiri nnakinku era olunkung’aana lwe yasembyewo okukuba olwanyeenyezza n’emiti lwabadde Masaka gye yasimbye amakanda okumala wiiki bbiri mu mwezi gw’okutaano omwaka guno.
l Okuva mu 2016 okutuusa olwaleero, ye dayirekita wa Central Uganda conference.
l Mu 2011-2015 yali dayirekita wa Uganda Union.
l Mu 2009 -2010 yali dayirekita w’obuwanika n’enkulaakulana ku Central Uganda Conference.
l Mu 2000-2008, yali Musumba wa Najjanankumbi SDA.
l 1994 – 1997 yali Musumba ku disitulikiti Masuliita SDA.
l 1987 – 1996 ye yali atwala eby’eddiini ku Light College Katikamu Secondary School.
l 1984 – 1986 yali mumyuka wa heedimansita ku Namulesa SDA Primary School.
l 1977 – 1980 yali musomesa wa pulayimale ku Gayaza Light SDA Primary School.