Omuvubuka ow'emyaka 30 agambibwa okutimbulula ebipande bya Pulezidenti Museveni n'okubirinnyako, akwatiddwa poliisi.
Okukwatibwa kw'omuvubuka ono, Isaac Nsubuga omutuuze w'e Lubya mu munisipali ya Rubaga mu Kampala, kiddiridde vidiyo okusaasaanyizibwa ku mikutu egy'enjawulo ng'omuvubuka ono alinnya ku bipande wansi.
EYakwatiddwa
Kigambibwa nti era abadde yeewera okugenda ng'atimbulula ebipande byonna n'okubiyuza era nga waliwo bye bamukutte nabyo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti bamugguddeko omusango gw'okuyuzaayuza n'okwonoona ebipande era nga waakutwalibwa mu kkooti.