Phiona Nyamutoro akulembeddemu abantu be Nebbi okulindirira Pulezidenti Museveni enkya

PULEZIDENTI Museveni olunaku lw'enkya lwaddamu okunoonya akalulu nga wakutandikira mu distulikitti ye Nebbi .

Abawagizi ba NRM nga bayisa ebivvulu e Nebbi
By Jaliat Namuwaya
Journalists @New Vision

PULEZIDENTI Museveni olunaku lw'enkya lwaddamu okunoonya akalulu nga wakutandikira mu distulikitti ye Nebbi .

Abantu b'e Nebbi nga bakulembedwamu Minista Phionah Nyamutoro basuze bulindaala nga bamulindiride ne bawera nti ku mulundi guno bakumuyira obululu era wakuwangulira kubitundu ebitaka wansi wa 85 mukitundu kyabwe. 

Abawagizi ba NRM nag bayisa ebivvulu e Nebi

Abawagizi ba NRM nag bayisa ebivvulu e Nebi

Nyamutoro ate era nga yakutte bbendera y'ekibiina okuvuganya ku kifo ky'omubaka omukyala owa distulikitti ye Nebbi yategeezeza nti kyenkana pulezidenti mu kitundu kyabwe agenda kuba tanoonya kalulu wabula bagenda kuba bamwebaza bwebaza olw'ebirungi enkumu byabakolede .

Yanokodeyo nti mu myaka 20 emabega bali tebafuna nga ku muntu yenna alondedwa ku kifo kyabwa minista okuva mu bitundu bya WestNile naye pulezidenti Museveni yakibagonomolako bweyamulonda ku kifo kino .

Yabazimbira ekyuma ky'amasanyalaze 'power station ' nga kino kisasanya amasanyalaze mu bitundu bya WestNile yonna era tegakyavaavako ,enguudo zikoledwa so nga ate era n'enteekateka zigenda mu maaso ezo okubazimbira ekibangiriza ky'abannamakolero .

Abawagizi ba NRM nga bayisa ebivvulu e Nebbi

Abawagizi ba NRM nga bayisa ebivvulu e Nebbi

Omubaka wa Padyere County Isaac Otimgiu yagambye nti ku mulundi guli pulezidenti Museveni mu kitundu kyabwe yawangulira kubitundu 68 naye ku mulundi guno bakwongera okumuyira obululu era basuubira nti agya kuwangulira ku bitundu ebitaka wansi wa 85.
Yamwebaziza olw'enteekateka ey'okwekulakulanya ku miruka eya parish development model nga eno eyambyeko nnyo okulwanyisa obwavu mukitundu kyabwe .

Mukiseera kino bagamba nti Kati kyebaagala pulezidenti okubakolera kwekusumuusa eddwaliro lyabwe okulituusa kussa ly'eddwaliro eddene,okwongera okubazimbira amasomero naye okusingira ddala baagala abantu abakosebwa olutalo olw'omuyekera Joseph Kony omwali okufiirwa ebintu byabwe n'okubibwako ente zaabwe baliyirirwe