Ebigezo bya Bukedde ebitegeka aba P7 biyingidde olunaku olwokusatu

EBIGEZO bya Bukedde ebiteekateeka abayizi ba P7 okuyitira waggulu PLE biyingidde olunaku olwokusatu nga biyinda mu masomero ag’enjawulo okwetoloola eggwanga.

Ebigezo bya Bukedde ebitegeka aba P7 biyingidde olunaku olwokusatu
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision
#Amawulire #Bigezo #P7 #Kutegeka

EBIGEZO bya Bukedde ebiteekateeka abayizi ba P7 okuyitira waggulu PLE biyingidde olunaku olwokusatu nga biyinda mu masomero ag’enjawulo okwetoloola eggwanga.


Leero Bukedde afulumizza ekigezo kya Ssaayansi ne ansa za Social Studies abayizi gwe baakoze eggulo ku Lwokubiri. Ebibuuzo bino bigendereddwaamu okuteekateeka omuyizi agenda okutuula ebigezo bya P.7 omwaka guno, nga November 3-4,2025.

 

Essomero lya Apex Nursery & primary school e Kinoni mu disitulikiti y’e Lwengo lye limu ku masomero agakoze ebibuuzo bya Bukedde bino, okusobola okuteekateeka abayizi baabwe baleme kubeera na kiwuggwe nga batuuse ku bigezo eby’akamalirizo.

 

Abayizi okwabadde Kevin Yiga ne Maria Nassaka baagambye nti ebigezo bino byabayambye nnyo okulaba we bayimiridde, era balina essuubi nti n’ebyakamalirizo bagenda kubikola bulungi.

 

Akulira essomero lino Eiden Ssali yasiimye kkampuni ya Vision Group olw’okuvangayo n’enteekateeka nga zino eziyamba n’okuzimba eggwanga.

 

Akulira okusaasaanya empapula za Vision Group Bruce Byaruhanga yagambye nti ebigezo bya Bukedde biteekebwateekebwa abasomesa abakugu ddala, okuva mu masomero agasinga amaanyi mu Kampala ne Wakiso.

 

Enkya ku Lwokuna Bukedde akuleetedde ekigezo ky’Oluzungu ne ansa za Ssaayansi. Ansa z’Oluzungu zijja kubeera mu katabo ka Mmande nga October 20, 2025. 

 

Byaruhanga yannyonnyodde nti ku Mmande nga October 20, 2025 Bukedde agenda kuleeta ebibuuzo 200 ebisinga okutawaanya abayizi, mu masomo gonna, ate ku Lwokuna tuleete ebibuuzo ebirala 200 ne ansa z’ebibuuzo bya Mmande.

 

Ku Mmande eddako nga October 27, era tukuleetere ebibuuzo ebirala 200 ne ansa z’Olwokuna, ate ku Lwokuna nga October 30 tuleete ansa za Mmande, n’obukodyo obulungamya omuyizi ng’atuuse ku kigezo eky’akamalirizo, aleme kubikola bubi olw’obuntu obutonotono obwewalika.

 

Ayagala okugula empapula ezirimu ebigezo bino mu bungi, kuba ku ssimu 0782800840.