EYALIKO Omuduumizi wa UPDF, Maj. Gen. Mugisha Muntu asabidde akalulu mu luggya lwa Poliisi y’e Lwabenge mu Disitulikiti y’e Kalungu n’asaba amagye ne poliisi bamulonde ezze Uganda ku mulamwa.
Muntu yatalaaze ebitundu eby’enjawulo mu Kalungu okwabadde; Birongo, Lwabenge, Kalungu n’awalala nga buli waayita abatuuze baamulombojjera bizibu ku bizibu omuli; enguudo embi, ebbula ly’amazzi amayonjo, amasannyalaze, obwavu n’ebirala ne bamusaba nti bw’afuuka Pulezidenti w’eggwanga abibakolereko.
Mu kwogerako eri abatuuze, Muntu yategeezezza nti obukugu bwe yakozesa okukulembera amagye ga UPDF bwe bukugu bwagenda okukozesa mu kukulembera Uganda.
Muntu era yakungubagidde omugenzi Raila Odinga gwe yayogeddeko nga Munnabyabufuzi alwaniridde eddembe ly’obuntu mu ggwanga lya Kenya n’ategeeza ajja kulwawo ng’ajjukirwa