Ab’e Kasambya baagala Muntu abawe disitulikiti eyaabwe beeyawule ku Mubende

RT.Maj.Gen.Mugisha Muntu asaggudde akalulu mu disitulikiti y'e Mubende abatuuze mu Konsitityuwensi y’e Kasambya ekiikirirwa omubaka David Kabanda ne bamusaba nti bw'afuuka Pulezidenti abawe disitulikiti beekutule ku Mubende.

Ab’e Kasambya baagala Muntu abawe disitulikiti eyaabwe beeyawule ku Mubende
By James Magala
Journalists @New Vision
#Mubende #Kasambya #Kulonda #Ntebe #Pulezidenti #Kweyawula

RT.Maj.Gen.Mugisha Muntu asaggudde akalulu mu disitulikiti y'e Mubende abatuuze mu Konsitityuwensi y’e Kasambya ekiikirirwa omubaka David Kabanda ne bamusaba nti bw'afuuka Pulezidenti abawe disitulikiti beekutule ku Mubende.

Muntu bwe yabadde e Kasambya eggulo mu kkampeyini

Muntu bwe yabadde e Kasambya eggulo mu kkampeyini

Abawagizi ba Mugisha Muntu abakung’aanidde mu tawuni y'e Kasambya bw'abadde agenzeeyo okubasaba akalulu k'obwapulezidenti bamutegeezezza nti emyaka egisoba mu 10 babadde basaba disitulikiti naye nga tebaweebwa kye bagamba nti kizingamizza nnyo enkulaakulana mu kitundu kyabwe.

Abantu b'e Kasambya bategeezezza Muntu nti ssinga baweebwa disitulikiti kijja kubayamba okufuna amalwaliro, enguudo n'amasomero okuzimbibwa ko n'abavubuka okufuna emirimo ne balusaba nti bw'afuuka Pulezidenti abasoosowaze.

Abaayo abaakung'aanye nga bamuwuliriza.

Abaayo abaakung'aanye nga bamuwuliriza.

Bo abatuuze b'e Lubimbiri, basabye Muntu okubawa amasannyalaze mu kitundu kyabwe nga bagamba nti bizinensi zaabwe zisannyaladde lwa butaba na masannyalaze.

Eno Maj. Gen. Muntu asabye abantu b'e Kasambya okumulonda n'ategeeza nti ye bw'afuuka Pulezidenti buli kimu kijja kukolebwa mu bwenkanya okulabanga Bannayuganda bonna bagabana ku kkeeki y'e Ggwanga.