Minisita Kasolo atandise emirimu gya CEC

MINISITA Haruna Kasolo Kyeyune eyaakalondebwa ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala Buganda atandise emirimu bw’atuuzizza ababaka ba Palamenti ne bassentebe ba disitulikiti mu Buganda abaawangula akamyufu n’abatabaganya ne bannaabwe be baawangula.

Minisita Kasolo (ku ddyo) ne Ssaabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITA Haruna Kasolo Kyeyune eyaakalondebwa ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala Buganda atandise emirimu bw’atuuzizza ababaka ba Palamenti ne bassentebe ba disitulikiti mu Buganda abaawangula akamyufu n’abatabaganya ne bannaabwe be baawangula.
“Engeri yokka ekibiina kyaffe ekya NRM gye kiyinza okunyweza obuwanguzi bwakyo mu kalulu akajja nga tuwangulidde waggulu ku bitundu 85 ku 100, kwe kutabagana ne bannaffe banna – kibiina be mwawangula ku bifo eby’enjawulo ne bakkiriza tukolere wamu baleme kusiba busungu ate kubeesimbako nga bajja ku bwannamunigina ekintu ekiyinza okututtira akalulu,” Kasolo bwe yategeezezza.
Bino yabyogeredde mu lukiiko olw’enjawulo lwe yayise ku Hotel Africana eggulo ku Lwokuna bwe yabadde asisinkanye ababaka bano ne bassentebe ba disitulikiti  gattako be baawangula abaabadde basukka mu 400. Kasolo yagambye nti buli ataafuna kaadi ya NRM nsaba atwale enkola gye nakolamu n’abanvuganya ku kifo kya CEC mu  Buganda okuli Kiwanda Ssuubi ne Hakim Kyeswa bwe twakkaanya ne utalwana ne bandekera ekifo.

Abamu ku baabadde mu nsisinkano ne minisita Kasolo.

Abamu ku baabadde mu nsisinkano ne minisita Kasolo.


“Njagala tukkaanye mutambulire mu migongo gy’abo abaabawangula,” Kasolo bwe yagambye.
Yagasseeko nti, “omuntu yenna awangudde kaadi ya NRM mu Buganda okwawukana ku bitundu ebirala abeera akyalina olusozi lunene okuwangula akalulu era tugenda kubayambako nga ekibiina wadde tulina ne bannaffe abatalabika abagenda okwongera okubayambako.”
Akulira abakaba ba NRM abava mu Buganda mu Palamenti, Robert Ndugwa Migadde yagambye nti mu kalulu ka 2021, abooludda oluvuganya Gavumenti baatukwata obujega era abantu ne batuuka n’okulowooza nti mu Buganda, NRM tetwafunamu wadde akalulu ekitali kituufu era ku luno bwe tukola n’amaanyi, tugenda kusobola okuddamu okweddiza Buganda kubanga wadde mu kalulu akawedde twakola bubi mu bitundu ebimu naye Mubende n’ebitundu e irala twabawangula okuggyako baatukosaamu mu bitundu by’e Mpigi, Mukono ne Masaka. Kasolo yagambye nti mu  Karamoja tulina okuwangulira ku bitundu 98 ku 100, ekirungi mulaba ne bannaffe ababadde batutawaanya nga FDC mu Busoga ekibiina kyamala dda okweyuza.Mu Bugwanjuba eyo teri kibiina kyonna wadde NUP tugenda  kuwangulira waggulu.
Wano mu Buganda njagala mbakulembere tufungize tubalageko kubanga ekirungi  mwalabye ebyabadde mu kugaba kaadi za NUP gattako ne Pulezidenti by’akoze mu kisanja kino gattako ne by’azze akola ebbanga lyonna twamaze dda okubalagako.
Ku bamu ku beetabye mu lukiiko luno kwabaddeko Ssaabawolereza wa Gavumenti, Kiryowa Kiwanuka, Kiwanda Ssuubi, Salim Uhuru owa CEC mu Kampala, Ssaabakunzi wa NRM, Rose Ssenninde n’abalala