EYALIKO Omubaka wa Palamenti asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa omusango gw’okupacca Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja oluyi ku matama mu lujjudde!
Onesimus Twinamasiko, eyali omubaka akiikirira Bugangaizi East mu Palamenti era nga ye yawangudde kaadi ya NRM mu kamyufu, yasindikiddwa mu kkomeraoluvannyuma lw’okusomerwa emisango mu kkooti y’e Kibaale.
Omulamuzi Nazifer Namayanja yamusomedde omusango gw’okukuba omuntu
n’okumutuusaako obuvune ku mubiri, era emisango gino n’agyegaana. Okusinziira ku ludda oluwaabi, kigambibwa nti nga July17, 2025 nga bali mu kifo we balangirira abantu abaali bayiseemu mu kamyufu ka NRM e Kakumiro Town Council ku kitebe kya NRM, Twinamasiko yakuba Nabbanja oluyi mu maaso ng’abantu.
Bino okubaawo kigambibwa nti bwe baali mu kulangirira abaali bayiseemu mu kamyufu ka NRM ak’ababaka ba Palamenti waabalukawo okuyombagana era mu kavuvung’ano ako kigambibwa Twinamasiko we yakubira Nabbanja oluyi. Twinamasiko bwe baamusomedde emisango egyo yagyegaanyira yataddeyo okusaba
kwe ng’ayagala ayimbulwe ku kakalu ka kkooti nga yaleese abantu okwabadde ssentebe wa disitulikiti y’e Kakumiro, Joseph Ssentaayi Senkusu, kkansala w’e Kakindo Town Council, Lawrence Bazara ne ssentebe wa Kisiito Town Council, Moses Tumwikye.
Wabula omulamuzi Namayanja yagaanyi okweyimirirwa kwa Twinamasiko ng’agamba nti abantu be yaleese okumweyimirira baabadde tebava mu kitundu kye kimu ne gy’abeera, era yamusindise ku alimanda mu kkomera e Kibaale okutuusa nga September 10, 2025 lw’anadda okuwulira okweyimirirwa kwe. Twinamasiko yakwatiddwa ku Lwokusatu ku makya ng’agenze ku poliisi ya CPS e Hoima okwongera okunoonyereza ku musango gwe guno kyokka yasanze fayiro ye yawedde bw’atyo n’atwalibwa butereevu mu kkooti gye bamuvunaanidde ogw’okukuba Nabbanja n’amutuusaako obuvune. Twinamasiko ye yawangula kaadi ya NRM ey’obubaka bwa Bugangaizi East okukwatira NRM bendera kulonda kwa 2026.