ABAZADDE basabiddwa obutayingirira bufumbo bw’abaana baabwe kuba bukolebwa abantu babiri nga n’abaana balina okubaako we bakoma ku nsonga z’abazadde baabwe si kubakaka kwawukana nga bafunyeemu obutakkaanya.
Rev. Kiyingi, Rebecca Nazziwa Kakeeto mukyala wa ssaabadinkoni we Kasenyi mu Mubende , Samuel Kasirye (owookubiri ku ddyo emabega) nga bali n’abayigiziddwa Father’s Union y’obusumba bwe Mpererwe.
dwa Rebecca Nazziwa Kakeeto mukyala wa Ven Rev. Can. Simon Peter Kakeeto, Ssaabadinkoni mu bussaabadinkoni bw’e Kasenyi mu disitulikiti y’e Mubende mu bulabirizi bw’e Mityana ku mukolo gw’okukuza olunaku lwa Father’s Union ogwabadde ku kkanisa ya St Mark Church of Uganda Kiyanja mu busumba bw’e Mpereerwe esangibwa mu muluka gwa Kawempe II mu Kawempe.
Nazziwa yagambye nti obufumbo bukolebwa abantu babiri nga bulinga kazannyo ka matatu omala kubikkula kaadi n’olaba oba ofunye kituufu oba otomedde olwo ng’alina emize nga tanaaba, mutamiivu ng’olina kufuba nnyo okwegayirira Katonda amukyuse. Yagambye nti oluusi abazadde be baagala n’okusiimira abaana abaagalwa era kino kikyamu.
Rev. John Kiyingi, atwala obusumba bw’e Mpereerwe yasabye abafumbo okuba abakkakkamu mu buli nsonga ng’obufumbo balina butambuliza mu Katonda. Ku mukolo guno, abaami 7 baayingiziddwa mu Father’s Union ey’obusumba bw’e Mpereerwe okwabadde Fredrick Mabiriizi, Joseph Ssevvume, David Tomusange, Robert Mugabe, Cydin Bukenya. Ate aba Father’s Union abaakoze obulungi baasiimiddwa nga kwabaddeko Samuel Kasirye n’abalala