Abaasunsuddwa okwesimbawo e Wakiso bakubye ebituli mu nkola ya Poliisi nga betegekera  okunoonya akalulu

ABESIMBYEWO ku bifo by’obubaka bwa Paalamenti mu disitulikiti ye Wakiso bekkokkodde emivuyo egitandikiddewo eri abakuuma ddembe ssaako bebavuganya nabo nga n’ennaku z’okukuba kampeyini tezinnaba kutuuka. 

Tolbert Musinguzi akulira eby'okulonda e wakiso ng'annyonnyola
By Ssaava Peter
Journalists @New Vision

ABESIMBYEWO ku bifo by’obubaka bwa Paalamenti mu disitulikiti ye Wakiso bekkokkodde emivuyo egitandikiddewo eri abakuuma ddembe ssaako bebavuganya nabo nga n’ennaku z’okukuba kampeyini tezinnaba kutuuka.
Akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Wakiso, Tolbert Musinguzi ng’ali wamu n'abakuuma ddembe, baasisinkanye abantu 97 abaasunsuddwa ku kifo ky’obubaka okuvuganya ku bifo eby’enjawulo mu Wakiso.

Naluyima ng'aloopera electro commission byeyayitamu mu kusunsulwa

Naluyima ng'aloopera electro commission byeyayitamu mu kusunsulwa


Rtd Lt Col Damiano Kato nga yesimbyewo ku bwa nnamunigina mu Busiro North yategezezza nti ku lunaku lw’okwewandiisa waliwo abaali betegese okumuwamba ng’ava ewuwe kyokka nti obukodyo bw’amagye ne bumweyimirira.
Kato yagambye nti yali ateeseteese kutuuka ku disitulikiti e Wakiso ku ssaawa 2;oo ez’okumakya kyokka oluvannyuma lw’okwekengera, yasalawo okuva ewaka ku ssaawa 12;oo okwewala ebinaddirira.
Ono era yalumirizza omu kubanna NRM abali munkambi ya Moses Mayanja, Isa Ssebuliba nga okumukolako effujjo okuviira ddala mukamyufu kyokka nti ne bwagenda ku poliisi e Kakiri okwemulugunya tebalina kye bamuyamba.
“Nzize ntulugunyizibwa Ssebuliba n’ekikoosi kye nga bano bebanonyeza Mayanja owa NRM gwe nesimbyewo naye obululu.

Bansanga mu nkiiko zange ne bazikyankalanya kyokka bwengenda e Kakiri ku poliisi tebannyamba.” Kato bweyayongeddeko.
Muwada Nkunyingi owa NUP nga yesimbyewo mu Kyaddondo East yategezezza nti naye yasimattukira watono okuwambibwa ku lunaku lweyali agenda okuwandisibwa, nti era okukyusa mmotoka abasinga gyebamanyi kyamuyamba okutebuka.
Yalumirizza poliisi ye Kasangati okumutulugunya buli lwabaako enkiiko zakuba ez’abantu abagenda okumuyambako, nti kyokka banne abamu bbo bwebaba bazikubye tebafuna kutataganyizibwa kwonna.
Betty Ethel Naluyima owa NUP nga yesimbyewo ku kifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti, yagambye nti abakuuma ddembe empisa ze baabalze ku lunaku lw’okwewandiisa zaabakanze nga kati tebamanyi bwebagenda kuyita mu nnaku za kampeyini.
Naluyima yategeezezza nti yalina emmotoka ntono ezaamuwerekerako ssaako booda 5 kyokka abakuuma ddembe ne bamutataganya era natuuka kikerezi mu kifo gye yali ategese okusisinkana abalonzi be.

Ab'esimbyewo nga bali mu nsisinkano n'akakiiko k'ebyokulonda

Ab'esimbyewo nga bali mu nsisinkano n'akakiiko k'ebyokulonda


Ababaka abalala okuli Fatumah Bani owa ANT ayagala ekya Busiro North, David Sserukenya owa NUP ayagala Makindye Ssabagabo ne Charles Mugisha ayagala ekya Busiro North, baasabye amateeka gakole kubuli yesimbyewo kitangire emivuyo egiyinza okubalukawo.
Akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Wakiso, Tolbert Musinguzi yalabudde abesimbyewo nti anaasangibwa ng’agulirira abalonzi, okukozesa olulimi oluvuma, okuwemula ne bikolwa ebirara wakusazibwamu ate akangavvulwe mu kkooti.
Yagambye nti tewali yesimbyewo yenna agenda kukkirizibwa kuyisa bivvulu oba okukuba kampeyini mukitundu ekitali kikye era nabasaba obutatwala buyambi bwa ssente nebirabo ebirara mu malwaliro, amasomero ssaako amakanisa kuba bikontana n’akakiiko k’ebyokulonda.
DPC wa poliisi ya Wakiso, Esther Kiiza yalabudde abeteeseteese okukola effujjo ku balala nti bano bagenda kukwatibwa ate bakangavvulwe. Yategezezza nti naabo abagufudde omuze okuyuza ebipande bya bannabwe bagenda kukwatibwa.
“Bwetunaakwata omuntu ng’ayuza ekipande, tujja kukola n’okunonyereza era bwetunzaaula enkambi gyavaamu, oyo eyesimbyewo yajja okuba nga yavunanyizibwa kumisango egyo.” DPC Kiiza bweyayongeddeko.
Oluvannyuma ababaka n’abayambi baabwe baatudde okusinziira mubifo gye balaga okulaba nga bakola pulogulamu etakontana wakati mukukuba kampeyini zaabwe ezitandika nga November 10.