Waliwo abazadde e Mityana abali mu maziga oluvannyuma lw’abaana baabwe babiri okubula okuva awaka mu ngeri etategeerekeka nga kati wiiki nnamba eweze nga tebalabikako.
Abaana ababuze kuliko Sam Ssengooba 12, mutabani wa Edward Ssenfuka ne Justine Nalumansi abatuuze mu katawuni k’omu Ttamu A, mu diviizoni y’e Ttamu mu munisipaali y’e Mityana.

Bazadde ba baana abaabuze.
Nalumansi, nnyina wa Ssengooba yagambye nti abaana baabula ku Lwakutaano lwa wiiki ewedde era nti kw’olwo, baasiiba bombi nga bakola emirimu gy’ewaka bulungi nnyo gyonna gye baali babatuma.

Omwana Zziwa.
Abaana bano babadde babeera ku kyalo kimu, nga basomera ku ssomero limu ate nga beerinako oluganda, kubanga omu Nalumansi gw’azaala ayita tata w’omulala (Zziwa) kojja.
Nalumansi yategeezezza nti okuva abaana lwe baabula, baaloopa ku poliisi y’e Wabigalo era ne baggulawo ffayiro y’okubula kwabwe eri ku SD REF:13/26/10/025.
Yayongeddeko nti bagezezzaako okunoonyaako mu byalo ebibeetoolodde, mu tawuni y’e Mityana n’ebweru waayo kyokka abaana bakyabuze.
Asabye omuntu yenna amanyi amayitire g’abaana bano abayambeko okubategeeza ku ssimu 0754570654 oba okuloopa ku poliisi ebali okumpi.

Ffayiro y'omusango gwe baggula ku poliisi
“Waaliwo emitwalo 15 ze tutaasangawo ne tulowooza nti bayinza okuba be baazitwala ate ekiyinza okubeera eky’obulabe kubanga omuntu ayinza okwagala okuzibabbako n’abatuusaako obulabe,” bw’atyo bwe yayongeddeko.
Yagambye nti beewunyizza nnyo engeri abaana baabwe gye baabuzeemu kubanga babadde bakkakkamu nnyo awaka era nga tebalina buzibu nabo.

Sam bw'afaanana.
Omwogezi wa Poliisi mu bendo bendo ly’e Wamala, Rachael Kawala yagambye nti agenda kusooka kulondoola nsonga nga tannabaako ky’ayogera ku kino.