SIPIIKA wa palamenti, Anita Among akyamukirizza abakozi mu kkampuni za Victoria Group of Companies bw’alagidde abagikulira okulinnyisa omusaala gwabwe mu bwangu nabo basobole okweyagala nga bafuna ekyo ekisaanidde.
Eggulo ng’atandika olugendo lw’okuwenjezza pulezidenti Museveni akalulu e Jinja, Among yasookedde ku kkampuni ya Yogi Steels mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe gye yasisinkanidde bannannyini n’abakozi okuva mu zi kkampuni 13 wansi wa Group eno.
Among akkaatirizza nti abantu abakola mu Fakitole basaana okusasulwa ekisaanidde basobole okufissaawo ensimbi ze basiga oba oli awo nabo okwetandikirawo Fakitole zaabwe mu biseera by'omu maaso kubanga enkumi ettaano abamu ze basasulwa buli lunaku ntono ddala.
Among era asabye bannansi okweggyamu enjogera nti kkampuni za bayindi ate nga ziri mu Uganda nga n’abazikolamu bannayuganda n’agamba nti kampuni zaffe era tusaanye okusiima gavumenti.
Ssaabawandiisi wa PLU, David Kabanda naye ayongedde okukikaattiriza nga kampuni zino bwe ziganyulwamu bannansi nga n’olwekyo tezisaanye kuyitibwa za Bayindi.
Elizabeth Mbeiza, maneja wa kampuni zino asiimye gavumenti olw’okubalwanirira nga ab’oludda oluvuganya balwanyisa kkampuni zaabwe.