PULEZIDENTI Museveni alaze entegeka mw’agenda okuyita okwongera okutaasa obuvubi mu ggwanga nga bannansi bafunamu n’eggwanga lyonna.
Mu kiwandiiko kye yafulumizza ekikwata ku nvuba embi ekiriko ennaku z’omwezi
October 20, 2025, Pulezidenti yategeezezza nti we yajjira mu buyinza mu 1986 tewaaliwo kifo kya mulembe we balongooseza byennyanja mu Uganda, kyokka aba yaakatuula mu ntebe, minisita wa yitale, Polof. Museveni:
Francisco Forte n’amutuukirira n’amutegeeza nga Gavumenti yaabwe bwe yali ewadde Uganda obukadde bwa doola 20 okukulaakulanya ebyobufuzi.
Wabula obutabanguko obwali mu ggwanga tebwabaganya kuzikozesa era tezikwatibwangako. Pulezidenti yamusaba bazimbemu ekifo we balongoosezaamaato ag’omulembe n’obutimba obutuufu obukwata ebyennyanja ebikuze byokka.
2. Ennyanja erina okubeerako n’omuwendo gw’abavubi ogw’ekigero, nga si buli muntu
gy’ava ng’adda ku nnyanja. Bannansangwa mu bitundu be balina okusooka okuweebwa omukisa nga tebannalowooza ku b’ewala.
3. Ebifo byonna ebyennyanja mwe byalulira birina okukuumibwa obutiribiri nga tewali kikolerwamu, wadde okuvubiramu, okuzimbamu bbiici, ebifo ebisanyukirwamu oba okukoleramu ekintu ekirala kyonna. 4. Abantu balina okutandika okulunda ebyennyanja ku nkingizzi z’entobazzi kuba akatale k’ebyennyanja kangi mu nsi yonna. Yawadde ekyokulabirako ky’ekidiba ky’ebyennyanja ky’alina e Lango mw’afuna obukadde 100
buli makungula oluvannyuma lw’okulundira ebbanga eriri wakati w’emyezi omunaana n’omwenda. 5. Waliwo ne kaweefube omulala
eyatandikibwa abakozi b’omu maka g’obwapulezidenti nga bakulemberwa Dr. Hillary Musoke abataddewo emirimu emirala egiyamba abaali mu buvubi e Najja, Ngogwe, Nyenga, Bukunja ne Kiyindi mu Buikwe. Bangi beenyigira mu bulunzi era kaweefube ono agenda kwongerwamu amaanyi ebyennyanja era ne bazimba Masese Fish Processing industry ku bukadde bwa doola 14. Ekifo kyatumbula ebyobuvubi abantu nen batandika okukufunamu era omwaka 2010 we gwatuukira, Uganda yalina ebifo ebirongoosa ebyennyanja 22. Eggwanga lyali liyingiza obukadde bwa doola 158.5 buli mwaka nga bannansi obukadde butaano n’emitwalo 30 be bafunyeemu emirimu. Kyokka envuba embi omuli okuvuba obwennyanja obuto n’okwonoona ebifo ebyennyanja mwe bizaalira, kyakendeeza ebyennyanja mu nnyanja ne kkampuni ezibirongoosa ne ziggalawo ne zisigala 8 zokka. Kyokka Gavumenti bwe yateeka amagye ku nnyanja kyataasaako embeera nga kati ziri 12.
1. Gavumenti egenda kussaawo ensawo y’abavubi nga yanjawulo ku ya PDM ebayambe okugula