PALAMENTI eragidde Ministule y’Ebyentambula ne poliisi y’ebidduka okwongera okunyweza amateeka g’oku nguudo okutaasa obulamu bw’abantu obutokomokera
mu bubenje obususse ennaku zino.
Mu lutuula olwakubiriziddwa omumyuka wa Sipiika, Thomas Tayebwa, ababaka bennyamidde olw’obulamu bwa Bannayuganda obuggwaawo enkya n’eggulo mu
bubenje bw’oku nguudo obuyitiridde.
Ababaka okuvaayo, kiddiridde obubenje obuguddewo mu mwezi guno omwabadde akaagudde e Kiryandongo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu, bbaasi 2 bwe zaatomereganye ne mufi - iramu abantu 46.
Ng’aggulawo olutuula lwa palamenti ku Lwokubiri, ayebwa yategeezezza nga bwe bazze boogera ku mbeera y’enguudo emirundi mingi, wabula nga kati minisitule eteekeddwa okukwatagana n’ekitongole kya poliisi y’ebidduka okunyweza amateeka g’oku nguudo kubanga eggwanga terisobola kugenda mu maaso nga lifi irwa abantu nga abaafi iridde e kiryandongo.
Omubaka Ngompek Linos(Kibanda North) yategeezezza nti obubenje bususse mu kitundu ky’e Kiryandongo ky’akiikirira, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu, n’asaba gavumenti okulowooza ku ky’okusuumusa eddwaaliro lya Kiryandongo General Hospital lituuke ku mutendera gwa Referral kubanga bafuna abagudde ku bubenje bangi,
ssaako okujjanjaba ababundabunda kyokka nga tebasobola kubawa bujjanjabi bwetaagisa.
Betty Ethel Naluyima (Mukazi/ Wakiso) yagambye nti minisitule y’Ebyentambula erina okuddamu okwekenneenya oluguudo olwo oluva e Kampala okudda e Gulu, bongere obupande obulabula abagoba b’ebidduka awetaagisa, n’okuteekamu obugulumo
humps) okukendeeza ku bubenje.
Muhammed Katoto (Katerera County) yagambye nti obuzibu bwonna buva ku
bagoba b’ebidduka abavugisa ekimama era gavumenti eveeyo n’amateeka amakakali ku bagoba bano.
Ye Tayebwa obuzibu yabutadde ku bagoba b’ebimotoka ebitikka ebyamaguzi (Sinotruck) okweyisa nga byo ebitasiba mu makubo, n’ategeeza nti lumu yatomeragana n’emu ku zo wadde ye alina enkizo ku nguudo (Right of way), ekimotoka kyatomera emu ku mmotoka ze era omugoba waayo n’avaamu n’adduka, n’asaba minista Bahati ensonga agitegeeze minisita w’ebyentambula, abagoba b’ebimotoka bino beddeko. Abed Bwanika (Kimaanya - Kabonera) yasabye ministule eveeyo n’amateeka agalondoola
abagoba b’ebidduka ne pamiti zaabwe nti waliwo abalina omuze
gw’okumenya amateeka. ku nguudo, nti ssinga oli aba ekisussizza ng’etteeka lisobola okumuwera okuddamu okuvuga