Museveni:Akkirizza ab’e Karamoja okulundira mu makuumiro g’ebisolo

PULEZIDENTI Museveni akkirizza Abakaramoja mu disitulikitti y’e Nakapiripirit okulundira ente zaabwe mu makuumiro g’ebisolo n’anenya ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku makuumiro gano ekya ‘Uganda Wild Life Authority ‘

Pulezidenti Museveni ne Mukyala we, Janet Kataha e Nakapiripirit nga banoonya akalulu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni akkirizza Abakaramoja mu disitulikitti y’e Nakapiripirit okulundira ente zaabwe mu makuumiro g’ebisolo n’anenya ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku makuumiro gano ekya ‘Uganda Wild Life Authority ‘
(UWA) okubagobaganyanga mu bukambwe nga tebakulembeza kuteeseganya.
Nakapiripirit erimu ekkuumiro ly’ebisolo eriyitibwa ‘Pian-Upe’ ng’abantu mu
kitundu kino bazze baloopera pulezidenti ng’aba ‘UWA’ bwebaagala ennyo ebisolo  by’omu nsiko okusinga abantu nga bakyesigamya ku ngeri gye babagobaganyaamu mu makuumiro gano obutalundiramu nte zaabwe.
Pulezidenti yategeezezza nti amangu ddala ng’okulonda kuwedde, ajja kusisinkana abakulu e Karamoja bakubaganye ebirowoozo ku ngeri ennung’amu ey’okusigala nga balunda ente zaabwe nga n’amakuumiro g’ebisolo nago gasigadde gatambuza bulungi emirimu gyago.
Okwogera bino, Museveni yasinzidde mu disitulikiti y’e Nakapiripiriti mu kutalaaga  kw’alimu okw’okunoonya akalulu k’Obwapulezidenti.
Yakunze abantu bano okumulonda era n’abasibirira ensonga 7 lwaki y’asaanidde okusigala nga ye mukulembeze w’eggwanga omuli eky’okubeera nti yakola butaweera
okuzza emirembe mu kitundu kino.
Yannyonnyode nti obute-benkevu e Karamoja buzadde enkulaakulana nga disitulikiti y’e Nakapiripirit yaakafuna ssente z’okwekulaakulanya
ku miruka eza PDM ezisoba mu buwumbi 10 era nga ziganyudd amaka 10,338 ate zo ssente z’Emyooga ze baakafuna zisoba mu kawumbi kamu nga ziganyudde bammemba 8,635 abeegattira mu SACCO 35.
Yabakuutidde okweyambisa enteekateka zino zonna okulwanyisa obwavu mu maka olw’ensonga nti wadde enkulaakulana ey’awamu agifubyeko naye ate amaka agamu
 akyalemeddemu obwavu.
Yagambye nti ebyenjigiriza e Nakapiripirit byongedde okutereera nga balina amasomero
ga gavumenti aga pulayimale 27, aga siniya gali 3 nga gano gasaasaanidde mu
miruka 15.
Ebyobulamu, pulezidenti yategeezezza nti nabyo agenda kubyongera ssente amalwaliro
naddala mu byalo gabeere nga galina obusobozi obujjanjaba endwadde ez’amaanyi.
Enguudo, kiromita 180.4 ze zikoleddwaako mu biseera bino e Nakapiripirit nga ku zino
kuliko olwa Nadunget-Iriiri, Kokeris- Matany, Namalu - akapiripirit, Akisim -Moroto -
Lokitanyala so ng’ate enguudo ezikyali mu kukolebwako kuliko olwa Moroto- Lokitanyala n’olwa Muyembe ppaka Nakapiripirit, n’endala nnyingi.
Ku nsonga y’amazzi amayonjo, yagambye nti abazimbidd ebidiba by’amazzi ebiwerako
nga bino bisitula liita z’amazzi agali eyo mu bukadde. Ku bino kuliko Aooyalet Valley Tank ng’eno etereka liita obukadde 40 ez’amazzi, Komaret valley
Tank etereka liita obukadde 20 nga gaakuyambako ne mu kufukirira ebirime mu biseera
by’ekyeya. Bye baasabye pulezidenti okubakolera kuliko:
1. Okubazimbira eddwaaliro eddene ery’omu kitundu.
2. Basabye Nakapiripirit tawuni kkanso esuumusibwe okutuuka ku ssa lya munisipaali.
3. Gavumenti etondewo ‘sacco’ ezinaayambako okusitula ebyenfuna
by’abavubuka abakarachuni nga bano be bavubuka ebiseera biri abeenyigiranga mu muze ogw’obubbi bw’ente