AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri, Anita Among asabye bannaddiini mu Jinja City okubayambako mu kaweefube w’okuwenjeza pulezidenti Museveni akalulu, n’ategeeza nti ye ngeri yokka gye bayinza okumwebaza ku ebyo by’abakoledde.
Among ku Lwokusatuakalulu ka Museveni yakawenjereza Jinja nga eno yasoose kusisinkana Abasiramu n’Abalokole ababadde bakunganidde ku Bugembe Islamic Institute ababadde baagala abayambe ku nsonga ezibaluma.

Abasiraamu abaabaddeyo mu kwaniriza sipiika Among
Agambye nti ebbeetu ly’enzikiriza zonna, emirembe wamu n’okuyambako Abasiramu mu nsonga zaabwe Museveni by’akoze bano basaanye mu buli lukung’aana lwe bakuba mu masinziizo okumusabira akalulu.
Ono era yeenyumiriza mu mubaka wa munisipaali y’e Bugiri, Asuman Basalirwa nti ye musiraamu eyayimirirawo ku tteeka ly’okulwanyisa omukwano ogw’ebikukujju n’asaba Abasiramu okubasabira ye ne Basalirwa nti bayita mu kusoomozebwa kungi omuli n’okubassaako envumbo mu mawanga agamu.

Omu ku bawagizi ba muzeeyi ng'akaaye.
Kassim Iddi Balonde amyuka kadhi wa disituliki ya Jinja asabye ono okujjukiza pulezidenti ku ttaka lye yabasuubiza okuteekebwako limbo oluvannyuma lw’eryo lye balina okuweebwa eddwaliro.
Wano awadde SACCO zaabwe ensimbi z’okwekulaakulanya era n’abategeezza nti baakusisinkana akadde konna okwogera ku nsonga endala ezibaluma omuli n’ez’e ttaka.

Sipiika ne banna NRM Nga bakunga Abasiraamu e Jinja
Oluvannyuma yeeyongeddeyo ku kisaawe kya St. Jude mu Jinja South West gye baakoze olukung’aana n’asaba abakulembeze okuzannya obulungi eby’obufuzi bafune byonna bye bayaayanira.