Amasannyalaze gakubye omukazi abadde asala olulagala ku kitooke n'akalirawo!

WABADDEWO ekyekango , omukazi abadde asala olulagala ku kitooke amasannyalaze bwe gamukubye n'afa.

Amasannyalaze gakubye omukazi abadde asala olulagala ku kitooke n'akalirawo!
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Masannyalaze #Lulagala #Kitooke #Kutta

WABADDEWO ekyekango , omukazi abadde asala olulagala ku kitooke amasannyalaze bwe gamukubye n'afa.

Bibadde mu zzooni ya Kibe ku Kaleerwe mu Kampala, amasannyalaze bwe gasse Fatuma Namuwonge , mu ntiisa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, agambye nti , batandise okunoonyereza ku bali emabega w'okubbirira amasannyalaze gano ne gatuuka okutta omuntu.