Aba Enterprise Uganda basse omukago ne Vision Group okutumbula omusomo gwa PAKASA

AB’EKITONGOLE kya Enterprise Uganda , basse omukago ne kkampuni ya Vision Group mu kutumbula n'okwenyigira mu nteekateeka y'omusomo gwa PAKASA ogw'omwaka guno.

Aba Enterprise Uganda basse omukago ne Vision Group okutumbula omusomo gwa PAKASA
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Enterprise Uganda #Vision Group #Musomo #Uganda #Mukago

AB’EKITONGOLE kya Enterprise Uganda , basse omukago ne kkampuni ya Vision Group mu kutumbula n'okwenyigira mu nteekateeka y'omusomo gwa PAKASA ogw'omwaka guno.

AKulira Vision Group, Don Wanyama (ku kkono) ng'ateeka omukono ku ndagaano y'entegeeragana gye twakoze ne Enterprise Uganda ekulirwa Charles Ocici (ku ddyo)

AKulira Vision Group, Don Wanyama (ku kkono) ng'ateeka omukono ku ndagaano y'entegeeragana gye twakoze ne Enterprise Uganda ekulirwa Charles Ocici (ku ddyo)

Pakasa ono, waakubeera ku kitebe ky'ekitongole kino e Butabika mu munisipaali y'e Nakawa mu Kampala nga November 22 era ng'okuyingira, kwa bwereere.

Ekibinja okuva mu Enterprise Uganda, nga kikulembeddwa akulira ekitongole kino ,Charles Ocici atadde omukono ku ndagaano ku lw'ekitongole ate Don Wannyama, n'assaako omukono ku lwa kkampuni ya Vision Group gy'akulira leero ku Lwokubiri nga November 4,2025.

Mu balala ababaddewo, ye mukung’aanya ow’oku ntikko Babara Kaija, akulira bakitunzi Hope Nuwagaba n'abalala so nga ye Ocici awerekeddwako abakulu mu kitongole kya Enterprise Uganda okuli Rosemary Mutyabule , Marry Odongo n'abalala.

Ronald Mukasa omu ku bakulu mu kitongole kino, asiimye enteekateeka eno era ne yeeyama okunyweza enkolagana eno ku lw'akulira ekitongole Charles Ocici.

Moses Mulondo, omukung’aanya w'omuko guno ogwa Pakasa mu lupapula lwa The New Vision, agambye nti guno omukisa gwa maanyi era n'akunga abantu okuggweera mu musomo guno nga Nov 22,2025.