OMU ku beesimbyewo ku bwapulezidenti ku kkaadi ya Alliance for National Transformation (ANT) Gen. Mugisha Muntu asabye bannaluweero okumwesiga bamuyiire obululu asobole okukyusa eggwanga kuba mwesimbu, mwesigwa era simunnanfuusi.
Asinzidde mu bubuga bw’e Luweero ne Wobulenzi mu disitulikiti ya Luweero ng'ayigga obululu n'ategeeza nti tazze kucamuukiriza na kulimba bantu wabula kubabuulira bituufu bamukkiririzeemu ku lw'amazima.
Agambye nti akyanyweredde ku nsonga ezaamuleeta omuli okulwanyisa enguzi, obubbi bwa ssente z'omuwi w'omusolo, okuleeta obwenkanya n'ebirala.
"Sinoonya ssente oba bitiibwa kuba nnabirozaako ne mbisuulawo olw'okuwakanya enkoko za Gen Museveni era Saalina ntalo naye wabula butakkaanya na nsonga ezaali zizza eggwanga gye twaliggya", Muntu bw’agambye.
Ategeezezza nti bwe bamussaamu obwesige agenda kuggyayo abantu abeesimbu mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo bakyuse eggwanga.
Yagambye nti eggwanga lirina eby'obugagga omuli zzaabu, copper amafuta n'ebirala nga bwe bisanga abantu abeesimbu ne babikozesa obulungi bayinza okubeera mu mbeera ezeeyagaza.