ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu kutema n'okubba abantu, bakwatiddwa abaserikale ba poliisi ababadde bali mu kulawuna.
Jovan Lumu, bamukwatidde okumpi n'essundiro ly'amafuta erya Oilcom e Bbira Kireka n'ejjambiya empya ttuku.
Kigambibwa nti bano, babadde batambulira ku pikipiki ya bodaboda nga bavugibwa Nicholas Kasozi Mawanda okuva e Nansana.
Poliisi era esobodde okuyigga Mawanda naye n'akwatibwa ne pikipiki nnamba UAM 201DQ gye babadde beeyambisa mu bunyazi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti okubuuliriza kugenda mu maaso era bakuumirwa ku poliisi e Bulenga