"Mukyuse endowooza yammwe ey'okwegya mu bwavu"

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri, Anita Among asabye abantu b’e Kibuku okukyusa endowooza yaabwe ey’okweggya mu bwavu bave mu kukaaba twawa nga entulege.

"Mukyuse endowooza yammwe ey'okwegya mu bwavu"
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Amawulire #Among Anitah #Buyinza #NRM #Museveni #Pulezidenti #Kufuga

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri, Anita Among asabye abantu b’e Kibuku okukyusa endowooza yaabwe ey’okweggya mu bwavu bave mu kukaaba twawa nga entulege.

 

Among yabadde Kadama mu ggombolola y’e Kagweri mu disitulikiti y’e Kibuku nga eno nnamungi w’omuntu eyabaddeyo yagumidde ekire ky’enkuba ekyazze wakati mu mukolo olw’obwagazi bwabwe eri NRM.

Among wamu n'abaakwatidde NRM bendera e Kibuku

Among wamu n'abaakwatidde NRM bendera e Kibuku

Wano akwatidde NRM bendera ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kibuku, Sylvia Wanda Katoko amukaabidde ebizibu by’abakyala okufiira mu ssanya, abaana okufa Nga bazalibwa kwosa abaana abawala okwefumbisa nga bakyali bato.

 

Agaseeko nti obwavu ewaabwe bungi nnyo era gavumenti esaanye okulaba engeri yonna gye babayambamu okweggya mu bwavu.

 

Akwatidde NRM bendera mu Kagweri County Dr. Patrick Wakida ebizibu by’alombedde Among tebyawukanye na bya munne n’agamba nti ne fakitole emu gye balina eyandibawadde emirimu nnyini yo yajisuulawo nga tennaggwa.

 

Among bano abawadde amagezi n’abagamba nti omukulembezze omulungi enkulaakulana ajiteeka mu kitundu gy’ava n’akwata ku bantu be nti naye ky yakola e Bukedea gy’ava nga yateerawo abantu entandikwa kati bw’agendayo ate be bamuwa ebirabo.

 

Asabye abantu okulonda abakulembeze abajja okwatagana n’abakulu mu gavumenti era abatajja kubeerabira nti ekibakaabya obwavu lwa nsonga be balonda babasuulirira.