Poliisi e Kamuli, eri mu kubuuliriza ku ngeri omutuuze ow'emyaka 60 gy'afiiridde mu mazzi ng'asala omugga.
Bino, bibadde Naigaga mu zzooni ya Buluya e Nnamwenda bw'abadde ku pikipiki ng'avugibwa mutabani we Tonny Mukanza ne bagwa mu mazzi.
Afudde ye Baabi Monday ow'e Kagoma mu ggombolola y'e Butagaya bwe babadde basala omugga gw'e Naigaga.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, ategeezezza nti basanze omugga nga gubooze ne bagwamu ne pikipiki, ye Monday n'afa kyokka mutabani atwaliddwa mu ddwaliro okufuna obujjanjabi ng'okubuuliriza kukolebwa.