POLIISI eri mu kubuuliriza ku katambi akaasaasaanye ku mikutu egy'enjawulo , nga kalaga omu ku baserikale ba poliisi, ng'akuba omuntu essasi e Kasese.
Kino kyaddiridde obulumbaganyi obwakoleddwa mu bitundu bya Rwenzori West ne Rwenzori East , abeebijambiya mwe baatemedde abantu ne babalumya n'okubatta.
Poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe, baatandise omuyiggo, okuyigga abazigu abo, era nga kigambibwa nti eyo, nga bali mu kibira, omuserikale yakubye omu ku basajja essasi nti nga newankubadde yabadde awanise emikono.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti okunoonyereza ku kikolwa kino, kugenda mu maaso.