Amawulire

Musumba Paula White Cain okuva mu America asabidde bannayuganda omukisa

OMUWABUZI omukulu mu maka gw'obwa Pulezidenti wa America mu by'enzikiriza Paula White Cain era omusumba wa Trump, asumuludde essaala egobye mu Bannayuganda emizimu n'abasabira okusumulukuka okuva ku njegere ezibadde zibakutte.

Omusumba ng'asaba
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

OMUWABUZI omukulu mu maka gw'obwa Pulezidenti wa America mu by'enzikiriza Paula White Cain era omusumba wa Trump, asumuludde essaala egobye mu Bannayuganda emizimu n'abasabira okusumulukuka okuva ku njegere ezibadde zibakutte.

Abantu nga basaba

Abantu nga basaba

Yasinzidde mu lukungaana lw'enjiri n'okusabira abakulembeze olwatuumiddwa "Command the future" ekivvunulwa nti duumira ebiseera by'omumaaso nga lwategekeddwa omusumba w'ekkanisa ya Miracle Center Cathedral e Lubaga, Robert Kayanja.

White, mukazi mutonotono nga yabadde mu kateeteeyi akeefananyiriza akakakobe n'engatto y'akakondo n'enviiri eza langi y'ekikomo, olwalinnye ku kituuti enduulu n'etta abakkiriza.

Ono yasoose kwebaza Pulezidenti Museveni olw'okumukkiriza okubuulira kigambo wa Katonda mu Uganda ensi ejjudde emirembe. Olwavudde ku kino n'ayanjula bbaawe Leonard Jonathan Friga Cain omuyimbi era obwedda omukubira ennanga ng'abuulira enjiri gwe yawaanye okumufaako eby'ensusso.

Kino teyakibandaddeko amangu ddala n'ategeeza abakkiriza nti kuno okusaba si kwabulijjo era ekimuleese kukola bunnabbi ku bannayunga Kuba ekiseera kyabwe kituuse eky'enkyukakyuka wano 'endiga' ne zifa essanyu wakati mu kusaakanyiza waggulu n'okukuba obuluulu.

Abantu nga basaba

Abantu nga basaba

Enjiri ye, yagyesigamizza ku nnyingo munaana obwedda z'amenya n'okunnyonnyola okwabadde okubuulira ku nkyukakyuka ey'omuggundu gye boolekedde nga mwoyo wa Katonda atambulira kumu nabo.

Yabategeezeza nti ekkanisa si bizimbe wabula gavumenti ya Katonda n'abakuutira okuyingira mu gavumenti eno singa baakununulibwa okuva mu kkoligo. Ono era yagambye nti obudde bwonna Katonda agenda ku beeyoleka abakolere "eby'amagero'.

Paula yabasabidde nga bw'abalaamiriza ku ky'okuva mu kuyuuzibwa okunywerera mu ddiini kyokka ono yabalabudde nti singa baagala okutuuka ku binene, balina okwesiga abantu abatuufu.

Olwamazeezo ennyigo n'alangirira nti kati essaala gy'azzaako waakugisoma mu nkola ya Africa bakira ayogererako ne mu nnimi ng'abantu amaziga gabayitamu ssaako okwerindiggula ebigwo olwa mwoyo okubayitirako.

Abantu nga basaba

Abantu nga basaba

Olukungaana luno lwakumala ennaku ttaano nga basomesa abakulembeze era ku Lwokutaano Pulezidenti Museveni y'asuubirwa okubeera omusomesa omukulu.

Omusumba Jesica Kayanja ye yasoose ku katuuti n'abuulira ku ky'emikisa ne ttalanta olwo Paasita Kayanja n'asembayo eyakubirizza abakulembeze ab'enjawulo okwongera okujja mu lukungana luno.

Lwetabiddwamu abakulembeze n'abasumba okuva mu mawanga nga USA UK, zambia, Gabon, Ethiopia, Rwanda, Australia n'amalala.