ABAVUBUKA mu Disitulikiti y'e Kaberamaido bekokodde abakungu ba gavumenti abatunda emirimo gya gavumenti ne baalaajanira Rt.Major.Gen.Mugisha Muntu okulwanyisa omuze gw'okutunda emirimo n'afuuse Pulezident.
Gan.Mugisha Muntu n'asaba akalulu
Rt.Major.Gen.Muntu bw'abadde asaggula akalulu mu Disitulikiti y'e Kaberamaido,abavubuka mu bitundu ebyenjawulo baamulajanidde ku bulumi bwebayitamu olw'obuta na mirimo wadde nga baasoma era balina ebisaanyizo byonna.
Abavubuka,bategezezza nti Muntu nti abakulu ku kakiiko ka Disitulikiti akavunaanyizibwa ku kugaba emirimo gya gavumenti batunda mitunde nti era oluusi n'abamu ku bavuvuka bawaayo Ssente kyokka n'emirimo be batagibwa olwe ne basigala mu ddukadduka olwa Ba Money Lender ne bamusaba nti bw'afuuka Pulezidenti abakolere ku kizibu ekyo.
Muntu mu kwogerako eri abavubuka b'e Kaberamaido,abasabye okukozesa obungi bwabwe okukunga bannabwe bamuwe akalulu n'ategeeza nti mpawo mukungu wa gavumenti yenna ajjakutunda mulimo gwa gavumentk asigale ng'ayinayina.

Gan. Mugisha Muntu ng'asaba akalulu
Mu ngeri y'emu abantu b'e Kaberamaido,balajanidde ku Bbula ly'Eddagala mu Malwaliro,Enguudo embi n'abasuubiza nti bwebamulonda wakussa essira ku kulwanyisa Enguzi okulabanga Ssente ezibadde zibbibwa zessibwa mu kukola ku nsonga za Bannayuyanda.
Mu kitundu kino era abantu balaajanidde Muntu okutereeza embeera y'Amasomero n'ategeeza nti gavumenti ye yakuzimbira ku byanjigiriza okulabanga abaana b'e Ggwanga bonna basoma.

Gen. Mugisha Muntu ng'asaba abantu akalulu
Muntu agenze ne mu Disitulikiti endala okwabadde Kalaki ne Amuria nga bonna,bamulaajanidde ku mbeera y'Obwavu n'abasuubiza nti bwebamulonda wakussa essira ku kukulakulanya abantu okuviira ddala mu maka era n'abakungu bamulonde.