Abatuuze, abasuubuzi n'abasaabaze ku luguudo lw'e Busaabala, boongedde okuwanjagira bekikwatako, okubayamba balusseemu obugulumu okukendeeza ku ndiima n'ekimama ebivaako obubenje.
Abatuuze bagamba nti kumpi buli lunaku, wabaawo akabenje naddala mu kitundu Ku Bimotoka okumpi n'omugga Kaliddubi n'okuliraana e Klezia ya St Pius e Masajja.
Kidiridde abavuzi ba boda boda babiri ababadde baweese abasaabaze, okutomereganira ku Bimotoka ekiro ekikeesezza leero, omu ku bbo, Julius Kiyimba, n'afa ate abalala ne baweebwa ebitanda nga bakoseddwa nnyo.
Afudde, abadde avugira pikipiki ku stage ya Ggwowonyeggere ng'odda e Namasuba era nga wakuziikibwa nkya ku ( Lwomukaaga ) e Bbaale Kalisizo. Okusinziira ku Mark Mugwanya.
Mugwanya ategeezezza nti ekkubo lino, liriko maasomero mangi ekyongera okwelalikiriza abazadde olw'endiima eri abebidduka