KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akunze Bannamikago okujja okukolagana n'Obwakabaka okutumbula enkulakulana egasizza awamu abantu.
Okwogera bino asinzidde ku ky'enkya ekitegekeddwa Obwakabaka okwogerezeganya ne Bannamikago baabwo n'okubategeeza ebyo byebalubirira okutuukako mu kkoowe ly'enkulakulana nga kibadde woteeri eyitibwa Sheraton 4 Points e Kololo mu Kampala.
" Twagala Bannamukago okukolagana naffe ate nabo basasanye ebyamaguzi byaabwe eri abantu. Obwakabaka bwa Buganda ffe lutindo olukutuusa mu katale," Mayiga bwagambye.

Abamu ku bakungu abeetabye ku mukolo
Okusinzira ku bbanka y'ensi yonna, eby'enfuna ebitundu 70 ku buli 100 biva mu buwanvu bwa kiromita 80 okuva mu kibuga Kampala, Mayiga kyagambye nti ekitundu ekyo kisangibwa mu Buganda yenyinni.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Munnalotale Robert Waggwa Nsibirwa ategeezeezza ng'Obwakabaka bwe bulina ekigendererwa ky'okutumbula enkulakulana etuukira ddala mu bantu okuyita mu kuteekawo Pulojekiti mu bitundu.
Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abaami b'amasaza ga Buganda, Kkangaawo Ronald Mulondo nga yatwala essaza ly'e Bulemeezi yeebazizza Obwakabaka olw'okuleeta awamu ebitongole ebitumbula enkulakulana neyeeyama nti bagenda Kakussa mu nkola ebyo byonna ebinaava mu nsisinkano eno ne Bannamikago bano.

Abataka abakulu b'ebika; Okuva ku kkono ye Mukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka Augustine Kizito Mutumba, Dr. Grace Bakyayita Kiddimbo ne Samuel Walugembe Ssababiito w'e Kibulala
Omukungu Mike Kironde ow'amasomero ga Janan awadde omusomo ku by'enjigiriza nga bwebiyimiridde mu Bwakabaka mu kiseera kino, alaze okwenyumiriza nti Bannamikago bangi bavuddewo okukwatagana n'obwakabaka okusomesa abaana b'eggwanga.
Ku lw'abavujjirizi abakulu ab'Obwakabaka aba Airtel, Ali Balunywa nga y'akulira Bakitunzi ategeezeezza ng'enkolagana yaabwe bwevuddemu ebirungi bingi naddala okutumbula eby'obulamu by'abantu.
Bannamukago okubadde Airtel, Uganda Aids Commission, Unaids, UNICEF, Centenary bbanka, Bannaddiini;- Ssabasumba w'Eklesia y'Abasodokisi Jeronymos Muzeeyi, Omulabirizi w'e Namirembe, Moses Banja, Baminisita okuva mu gavumenti eyawakati; Ruth Nankabirwa ow'amasanyalaze, Judith Nankabirwa ow'ettaka n'ebizimbe n'abakungu abalala beetabye ku mukolo guno