ABASUUBUZI b’akatale k’e Kasubi lwe bakeesa lwe babala kwenkana nkoko ya mutamiivu, beeraliikirivu oluvannyuma lw’okupima oluguudo lwa Hoima olugenda okutwaliramu ekitundu ku katale we bakolera kye bagamba nti, kigend kubafiiriza.
Nga bakulembeddwa Ssentebe waabwe Ronald Zzibu, yagambye nti, abasuubuzi abasoba mu 250 bagenda kufiirwa ebifo, nga bukya balupima basula bakukunadde nga
balowooza balizuukuka ng’ebintu byabwe birugenze.
Yategeezezza nti, olw’okuba akatale kafunda, abasuubuzi abamu bakolera wabweru ekigenda okubakosa nga bagaziya ekkubo ng’abakolerawo bonna baakuvaawo.
Bakukkulumidde Gavumenti
olw’okubasuubiza okugaziya akatale kaabwe n’etekikola kati emyaka giweze ena bukya basengukirayo okuva gye baali. Omwogezi waabwe, Hussein Ddibya, yategeezezza nti, we baali bakolera ku kkubo mu December wa 2020 baavaayo mu bugubi ne basengukira wano nga basuubiziddwa ensi n’eggulu.
Olw’okuba ebintu byabwe byali byonooneka, bakkiriza okujja mu kafo akafunda kyokka nga tekali ku kkubo kali munda mu mayumba we batabalabira. KCCA yatusuubiza okutugulira ekifo ekituliraanye era n’esaba bannannyini bibanja ebyo okutwalayo ebiwandiiko byabwe, twali tusuubira nti, we banajjira okutusenda n’ekifo kyagulibwa dda tusengukire eyo naye kati mpaawo kye balaba, Ssentebe Zzibu bwe yagambye.
Yannyonnyodde nti, n’okutuusa kati tebalabawo nteekateeka zonna oba ekifo kinaagulibwa. Baasabye Bukedde nga bw’eri ssekanyolya, okuyimusa ensingo yaayo okulaba nga baddibwamu mu nteekateeka zino.
Agamba nti, n’ekisinga okubeeraliikiriza, n’ekifo we badda kifunda ffuuti ssatu ku ssatu kyokka nga kyalibadde ssatu ku mukaaga, beenyigiriza we bakolera, kati singa basalibwako ng’enteekateeka bw’eri banadda wa! Abapima oluguudo baatutuukirira ne batutegeeza nti, ekitundu ku katale bagenda kukikozesa, naffe ne tugamba KCCA
bakama baffe abavunaanyizibwa ku katale abaatugamba nti, bagenda kutugulirayo akafo
we tuneeyongera naye kati ekiseera kitambula mpaawo kye balaba.
Tusaba KCCA okwanguwa okutugulira ekifo kino nga n’oluguudo terunnatandikab kukolebwa tusobole okuteekerateekera abasuubuzi baffe we banaakolera, Ssentebe bwe
yagambye. Zzibu yannyonnyodde nti, gye baava nga bakolera ku luguudo, baasooka kubazimbira wano we bakolera kati nga tebannasengula kyokka agamba nti, ku luno beeraliikirivu kuba balaba enteekateeka z’oluguudo zigenda mu maaso naye mpaawo kye balaba ku ky’okubagaziyiza akatale ate n’amawulire okuva mu KCCA tebagafuna. Omwogezi wa KCCA, Daniel Niwabiine yagumizza abasuubuzi nti, enteekateeka z’okuzimba oluguudo n’okugaziya akatale zigenda kutambulira wamu n’abasaba
obuteeraliikirira. Yagambye nti, Gavumenti efaayo ku bantu baayo nga tesobola kusengula basuubuzi n’ebaleka nga tebalina we bakolera so
bateekeddwa okuguma kubanga balina ekifo we bagenda okugula aw’okubasengulira era enteekateeka zigenda mu maaso.