Amawulire

Uganda ewezezza emidaali 13 mu mizannyo gya Islamic Solidarity games e Saud Arabia

Musaayimuto Samuel Simba Cherop awangulidde Uganda omudaali ogwe 13 mu mizannyo gya Islamic Solidarity Games egiyindira mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.  

Munnayuganda ng'alaga omudaali oguwanguddwa
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Emisinde 5000m Finals (Basajja)
1.       Mohamed Ismail Ibrahim (Djibouti) – 13:46:12 (Gold)
2.       Birhanu Balew (Bahrain) – 13:46:26 (Silver)
3.       Samuel Simba Cherop (Uganda) – 13:46:45 (Bronze)
Musaayimuto Samuel Simba Cherop awangulidde Uganda omudaali ogwe 13 mu mizannyo gya Islamic Solidarity Games egiyindira mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.
Cherop omudaali awangudde gwakikomo oluvannyuma lwokumalira mu kifo ekyokusatu mu mbiro eza mmita 5000 mu basajja.
Cherop addukidde edakiika 13:46:45 emabega wa munnansi wa Bahrain Birhanu Balew 
Akutte ekyokubiri ate nga omudaali ogwa zaabu guwanguddwa munnansi wa Djibouti Mohamed Ismail Ibrahim.

Islamic Solidarity Games

Islamic Solidarity Games


Guno gwe mudaali gwa Cherop ogwokubiri mu mpaka zino nga gyebuvudeko yawangudde omudaali ogwa Feeza mu mbiro eza mmita 10,000.
Emizannyo gigenda kukomekkerezebwa ekiro kya leero nga bannayuganda baakufundikira mu mpaka zekigwo ekizungu (Roger Kizza, Veronica Ayo ne Rebecca Amongi) nokusitula obuzito okwabaliko obulemu (Dennis Mbaziira).
Ku midaali 13 gyeyaakawangula, guno gwemulundi Uganda gwekyasinze okukumba emidaali emingi mu mpaka zino bukyanga etandika kuzeetabamu mu 2005.