Amawulire

Minisita Mayanja azzizza omukadde ku kibanja omugagga kwe yali yamugoba

MINISITA omubeezi ow'ebyettaka Dr. Sam Mayanja azzizza omukadde ku kibanja kye ekyatundibwa bazzukulu be n’alagira n'ennyumba ezaali zaazimbibwako zidde mu Mukono gy'omukadde wakati mu kulagira RDC w’e Luwero okugoba empapula zonna azireete mu ofiisi ye asazeemu n’ebyapa ebyakolebwa ku kibanja kino.

Minisita Mayanja azzizza omukadde ku kibanja omugagga kwe yali yamugoba
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

MINISITA omubeezi ow'ebyettaka Dr. Sam Mayanja azzizza omukadde ku kibanja kye ekyatundibwa bazzukulu be n’alagira n'ennyumba ezaali zaazimbibwako zidde mu Mukono gy'omukadde wakati mu kulagira RDC w’e Luwero okugoba empapula zonna azireete mu ofiisi ye asazeemu n’ebyapa ebyakolebwa ku kibanja kino.

Minisita Mayanja n'omukadde Namirimu ng'alambula ettaka kwe yali yagobwa.

Minisita Mayanja n'omukadde Namirimu ng'alambula ettaka kwe yali yagobwa.

Minisita Mayanja abadde ku kyalo Bajjo Naanywa ekisangibwa mu Bombo Town kaaso mu disitulikiti y’e Luwero bw’abadde agenze okuwuuliriza ensonga z'omukadde Getrude Namirimu 90, oluvannyuma ly'omugagga Emmanuel Sewaya okumutwalako ekibanja kye.

Kigambibwa nti ono teyamukkiriza kulimirako ate nga ekibanja kino we baziika maama we nga kw’otadde ne jajja we abaali bannannyini kibanja kino nga kati takkirizibwa kutuukawo olw'omugagga Sewaya okumulemesa okutuuka ku kibanja kye ate nga n’ennyumba yazizimba okumpi ne bijja.

Minisita Mayanja asinzidde wano n’alagira omukadde adde ku kibanja kye era n’alagira poliisi ne RDC w’e Luwero okukwata abantu abatunda ekibanja ky'omukadde.

Tags:
Amawulire
Kugoba
Kibanja
Mukadde
Mayanja