BANAMAWULIRE abasoba mu 30 batandise okutendekebwa okulaba nga basobola okuwandiika n'okukola mu kulonda omwaka gwa 2026.
Okutendekebwa kuno kukulembedwamu ekitongole ekimanyibwa nga Uganda Editors' Guild era nga bano basabiddwa okukola omulimu gwabwe n'obukugu awatali kyekubiira .
Lindah Kibombo omukubateesitesi ategeezeeza nti banamawulire bangi baava ku mulamwa gw'okukola omulimu gwabwe nga bano batunulira sente n'abamu batuuka okufuna abantu oba banabyabufuzi bebakolera kyagamba nti kikolwa kikyamu era akivumiridde .

Abamawulire nga bali mu musomo
Asembyeyo nga akuutira abamawulire okwegendereza obutafuna buzibu mu biseera by'obululu kubanga tewali mawulire gasinga bulamu n'olwekyo balina okuba obulindaala nga bakola .
Taabu Francis mu kusomesa abamawulire, abasabye okwedendereza obulamu bwabwe nga tebamagesiga buli muntu kubanga kiteeka obulamu bwabwe mumatigga .
Assembyeyo nga asaba abamawulire wandiika amawulire agatalina kyekubiira kyagamba nti kiva kubamawulire abakozesebwa banabyabufuzi ababawa ensimbi nebintu ebirala kyagambye nti kikyamu.