Amawulire

Kkwaya ya Lutikko y’e Lubaga ekyazizza ey’e Mombasa ne bakola ekivvulu

Kkwaya ya Lutikko y’e Lubaga enkulu, eya St. Cecilia, ekyazizza ey’a Lutiikko y’e Mombasa mu Kenya. Mu wiiki ennamba gyebamaze wano, abagenyi balambuziddwa ebifo bya Klezia Katolika eby’enkizo, okuli ekiggwa ky’Abajulizi eky’e Namungongo, n’eky’e Munyonyo, n’e Nakivubo awattirwa Omujulizi Yozefu Mukasa Balikuddembe.

Kkwaya ye Mombasa ng'eyimba
By: Mazinga Mathias , Journalists @New Vision

Kkwaya ya Lutikko y’e Lubaga enkulu, eya St. Cecilia, ekyazizza ey’a Lutiikko y’e Mombasa mu Kenya. Mu wiiki ennamba gyebamaze wano, abagenyi balambuziddwa ebifo bya Klezia Katolika eby’enkizo, okuli ekiggwa ky’Abajulizi eky’e Namungongo, n’eky’e Munyonyo, n’e Nakivubo awattirwa Omujulizi Yozefu Mukasa Balikuddembe.

Kkwaya ye Mombasa ng'eyimba

Kkwaya ye Mombasa ng'eyimba

Obugenyi bw’akomekkerezeddwa n’ekivvulu ky’ennyimba z’Amazaalibwa, eky’abadde mukibangirizi ky’ennyumba y’Abasaserdooti, ku Lutikko e Lubaga, ku Ssande nga December 7. Mukivvulu kino, kkwaya zombi, eya St.Cecilia Lubaga Cathedral, n’eya Holy Ghost Cathedral Mombasa, zaayimbidde wamu enyimba z’Amazaalibwa ga Kristu, ez’aasanyusizza ennyo abantu, era nezibayingiza mu mbeera ey’Amazaalibwa.

Kkwaya ye Mombasa ng'eyimba mu Lutikko e Lubaga

Kkwaya ye Mombasa ng'eyimba mu Lutikko e Lubaga

Ssentebe wa kkwaya ya St. Cecilia, Paulo Nsubuga Mukoota yeebazizza abo bonna abawagidde kkwaya, n’esobola okukyaza gyinnewaayo ey’e Kenya. Y’awadde obweyamo nti kkwaya zombi zijja kwongera okunyweza enkolagana yaazo.

Kkwaya ye Lubaga ng'eyimba

Kkwaya ye Lubaga ng'eyimba

Bwanamuluku wa Lutikko y’e Lubaga, Fr. Achilles Mayanja yeebazizza kkwaya ya Lutikko y’e Mombasa olw’enkolagana ennungi gy’erina n’eya Lutikko y’e Lubaga.

Fr. Anthony Aliddeki Musaala, naye ekivvulu kino y’akiyimbiddemu.

Kkwaya ye Lubaga ng'eyimba

Kkwaya ye Lubaga ng'eyimba