Amawulire

Poliisi egobaganye n'abagambibwa okuba ababbi b'ente n'egibasuuza!

WABADDEWO ddukadduka mu kiro ekikeesezza leero, poliisi e Kasanje bw'ebadde egobagana n'abagambibwa okubeera ababbi b'ente.

Poliisi egobaganye n'abagambibwa okuba ababbi b'ente n'egibasuuza!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

WABADDEWO ddukadduka mu kiro ekikeesezza leero, poliisi e Kasanje bw'ebadde egobagana n'abagambibwa okubeera ababbi b'ente.

Omuntu omu akwatiddwa n'ente egambibwa okuba enzibe nayo n'azuulibwa mu kitoogo e Kasanje ku luguudo oludda e Nakawuka.

Ente egambibwa okuba enzibe

Ente egambibwa okuba enzibe

Kigambibwa nti ente ezuuliddwa, ya mutuuze Augustine Sseruwagi era nga bagikukunudde mu kitoogo kya Bimbi. Ramanthan Zimbwe ow'e Kyengera  agambibwa okuba emabega w'obunyazi buno, naye akwatiddwa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire agambye nti omuyiggo gw'abalala gukolebwa.

Abeebijambiya abagambibwa okuyingirira omutuuze e Katabi ne beekweka mu ngalama y'ennyumba poliisi ebakukunuddeyo

Tags:
Nte
Babbi
Poliisi
Kusuuza