PULEZIDENTI Museveni alaze obukulu bw’okulwanyisa obwav mu maka, ng’erimu ku kkubo ery’okwongera okusitula abakazi n’abaana abawala.
Museveni agamba nti amaka bwe gabaamu ssente, abaana abawala baba basobola okunywerera ku masomero, kubanga abazadde baba basobola okubaweerera, era baba basobola okufuna obujjanjabi obulungi nga balwadde, olw’abazadde okuba n’obusobozi okubatwala mu malwaliro ag’amaanyi.
Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse omumyuka we, Jesica Alupo, ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna, ogwabadde ku kisaawe e Kololo eggulo ku Ssande. Alupo ye yakiikiridde Museveni atali mu ggwanga, ng’ali ku bugenyi e Tanzania, ku mirimu gy’omukago gwa East Africa, gye baamulondedde okubeera Ssentebe omuggya ow’omukago guno.
Abakazi okuva mu buli kanyomero ka ggwanga beetabye ku mukolo guno, ne boolesa ebintu eby’enjawulo omuli eby’obuwangwa, emirimu gye bakola, obukugu bwabwe mu
bisaawe eby’enjawulo, n’ebirala.
Abakazi abali mu bitongole by’okwerinda be beefuze olunaku, nga bakuba bbandi n’okunyaanyaagiza emirere, nga bwe bakumba mu yunifoomu zaabwe ez’enjawulo, wakati mu buluulu okuva mu bantu abeetabye ku mukolo guno. Pulezidenti Museveni yagambye nti gavumenti ye ettaddewo ebintu ebigasiza abantu awamu biyambeko mu nkulaakulana, okugeza amasannyalaze, enguudo, amasomero, eddembe n’obutebenkevu, n’ebirala, kyokka bino byonna tebimala kuggya bantu mu bwavu. Okuzimba obugagga n’emirimu, Museveni yagambye nti buba buvunaanyizibwa bwa muntu ssekinoomu.
Minisita w’ekikula ky’abantu, Betty Amongi Akena yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okulonda abakazi mu bifo by’obukulembeze, kubanga mu kiseera kino mu kabineti bawera 44, abawandiisi ab’enkalakkalira mu minisitule bali 48, ate mu ssiga eddamuzi bakola ebitundu 51 ku 100. Kyokka yalaze nti wakyaliwo okusoomoozebwa okwetaaga okukolwako omuli okunyweza ebitongole by’amateeka, okusobola okuwa abakazi obwenkanya, n’awa eky’okulabirako nti olwa Poliisi obutaba na bikozesebwa ng’amafuta, balemererwa okugenda mu byalo okukung’aanya obujulizi ku mi-sango gy’okutulugunya abakazi.
Yalaze ebizibu ebirala ebikosa abawala, omuli okubafumbiza nga bato, obutali bwenkanya mu ngabana y’ebyobugagga ng’abafumbo baawukanye, okukomola abakazi
mu buwangwa obumu, nga wadde waliwo etteeka erirwanyisa ekintu kino, naye wakyaliwo abakikola.
Alupo yasuubizza nti ebizibu bino byonna agenda kubituusa ewa Pulezidenti Museveni, bisobole okukolwako.
BAWEEREDDWA EMIDAALI
Abakazi 34 baaweereddwa emidaali olw’emirimu gye bakoze okukulaakulanya eggwanga n’okusitula abakazi abalala. Kuno kwabaddeko; Samalie Wakholi okuva mu
ofiisi y’omuwaabi wa gavumenti, gy’amaze emyaka egisoba mu 20, Ying. Pricilla Namugerwa okuva e Bukomansimbi, nga yinginiya wa byampuliziganya, Maxensia
Nakibuuka okuva e Masaka, alwanyisizza akawuka ka siriimu, Ritah Mitala omukugu mu kubala ebitabo, Elizabeth Kasenene omukubi wa Pulaani, munnamatteeka Lilian Byarugaba, Sylivia Namubiru okuva e Kalungu, Jane Nabawanuka, Dr. Joyce Tamale, Florence Nalubega n’abalala. Omukolo gwetabiddwaako Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja, Ssaabalamuzi Flavian Zeija, akulira abalamuzi ba kkooti enkulu Jane Francis Abodo, eyali omuduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura, eyaliko Katikkiro wa Uganda Amama Mbabazi, ababaka b’amawanga amalala mu Uganda, Bannaddiini, n’abantu ba bulijjo.
AMAGYE GAJJANJABYE ABANTU
AMAGYE ga UPDF gaategese olusiisira lw’ebyobulamu okujaguza olunaku lw’abakyala ne basaba abantu okuloopa abeenyigira mu kulya enguzi ekikonzibya ebyobulamu ekissa obulamu bwa Bannayuganda mu matigga. Olusiisira baalukubye mu ssomero lya KCCA Primary School e Kamwokya. Akulira eby’abakyala mu UPDF, Brig Gen. Charity Bainababo (waggulu) yategeezezza nti baasazeewo okutegeka olusiisira luno oluvannyuma lw’okukizuula ng’abantu bangi ababeera mu ghetto naddala
abakyala balina endwadde ezeetaga obujjanjabi