Amawulire

Omwana ew'emyaka ena eyabuze ku bakadde be asangiddwa mu kifulukwa ky'ennyumba nga yattiddwa

ABATUUZE  be Kitebi ekisangibwa mu gombolola ye Lubaga bali mu miranga n'abiwoobe oluvanyuma   lw'olwokuzuula  omwana wa mutuuze munnaabwe Bruliian Nambejja owe myaka 4   ng'attiddwa mu bukambwe .

Omwana eyattiddwa
By: Yudaaya Namyalo, Journalists @New Vision

ABATUUZE  be Kitebi ekisangibwa mu gombolola ye Lubaga bali mu miranga n'abiwoobe oluvanyuma   lw'olwokuzuula  omwana wa mutuuze munnaabwe Bruliian Nambejja owe myaka 4   ng'attiddwa mu bukambwe .

Poliisi ng'eggyawo omulambo

Poliisi ng'eggyawo omulambo

 Kigambibwa nti Nambejja yabuze  mu malya g'ekyemisana olunaku  lw'eggulo era  n'ebasula nga bamulanga  okutuusa olunaku  lwa leero lwebasanze omulambo gwe nga guli mu  mu kifulukwa ekisangibwa mu  e Kitebi mu kiffo ekimanyidwa nga star okumpi n'omwana weyabulidde.

Poliisi ngereese embwa ekonga olusu

Poliisi ngereese embwa ekonga olusu