NG'EBULA ennaku kkumi, okutuuka ku mazaalibwa, poliisi evuddeyo n'erabula ku bikolwa eby’ekitujju ebiyinza okubalukawo naddala mu kiseera ng'abantu bakung’aanidde mu bifo eby'enjawulo.
Abategeka ebivvulu, n'abategeka okusaba okw'enjawulo, balina okukolagana obulungi n'ebitongole by'ebyokwerinda ate era nga baweereddwa olukusa okuva eri omuduumizi wa poliisi mu ggwanga.

Kituuma ng'annyonnyola.
Abategesi b'ebivvulu, balabuddwa, ku kulanga abayimbi nga tebagenda kubeerayo nti kuba oluusi kivaako abantu okwekalakaasa ne boonoona ebintu ng'omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, bw'annyonnyola.
Abalina enkaayana ku ttaka, Kituuma abalabudde obutagezaako kusengula bantu n'okubakolako efujjo mu biseera bino eby'ennaku enkulu nti kuba kimenya mateeka era baakukwatibwa.
Mu birala by'alabudde, mwe muli okwewala okutambula ne ssente enyingi, okwewala okubuulira buli omu gy'ogenda okutambulira, okumanya ekifa ewa muliraanwa wo, okubeera n'ennamba z'abaserikale ba poliisi abakuli okumpi.
Ebirala era, mulimu okwegendereza omuliro, okwewala okutamiira ne muvuga, abatambulira ku maato, balina okwambala life jackets , obutaleka baana bato bokka mu nnyumba , n'okukuuma ebisolo byammwe.