OMUBAKA wa gavumenti mu Kampala Central, Shaffic Nsubuga, alagidde abaddukanya ppaaka , obutale, akeedi n'ebifo byonna omukungaanira abantu, okwongera amaanyi mu kwaza abantu n'emigugu gyabwe, mu kaweefube w'okulwanyisa ebikolwa eby'ekitujju.
Nsubuga ategeezezza nti ebiseera nga bino, abatujja bayinza okubikozesa okutukolako obulumbaganyi nga n'olwekyo , tulina okubeera n'amaaso amaagi n'okuloopa ebintu n'abantu betuteekakasa eri abebyokwerinda.
Nsubuga era, alagidde mu buli bbaasi, okubaamu ne badereeva babiri okubeera nga bayambagana, okwewala obukoowu obuyinza okuvaako okusumagira ne bakola obubenje.