Amawulire

Abantu Bataano abagambibwa okwekobaana ne batta Ssentebe wa LC1 bakwatiddwa

Abantu Bataano abagambibwa okwekobaana ne batta Ssentebe wa LC1 bakwatiddwa

Abantu Bataano abagambibwa okwekobaana ne batta Ssentebe wa LC1 bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu Bataano abagambibwa okwekobaana ne batta Ssentebe wa LC1 bakwatiddwa poliisi

Ettemu, lyabadde ku kyalo Bubirabi lower mu muluka gw'e Bubentsye mu Ggombolola y'e Wanale mu disitilikiti y'e Mbale, bwe basse Moses Nabende 47 era nga y'abadde Ssentebe wa LC1 ku kyalo ekyo. 

Kigambibwa nti abaamusse, baasose kukasuka macupa nga Ssentebe ali ne bagande be 7 n'abawaka mu kifo ky'ebbaala ku kizimbe ky'abadde azimba.

Kitegeezeddwa nti, bwe  yafulumye okwetegereza abaabadde babakolako efujjo, kwe kusanga ekibinja ky'abantu abaabadde bakutte emiggo, ebiso, amayinja ne batandika okukumukuba ne batwaliramu n'abamu ku bantu beyabadde nabo. 

Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, yagambye nti bagezezzaako okumutwala mu Mbale general clinic , gye yafiiridde.

Bakutte Rogers Mafabi 40, Fred Nabende 34, Jackson Wamboga 38 , Sam Shisa 43 ne Christopher Mafabi 51 bayambeko mu kunoonyereza. 

Kitegeezeddwa nti Ssentebe y'abadde akulira kampeyini za Hon Magoola member  wa parliament era eyesimbyewo mu Bungokho North era nga kisuubirwa nti ntalo zabyabufuzi