PULEZIDENTI Yoweri Museveni asabye Abalangira n’Abambejja okumuwa obuwagizi okusobola okukuuma ebyo byonna ebituukiddwako mu bbanga lyafugidde Uganda okuli okubaddiza embuga z’amasiro n’embiri bya Bajjajjaabwe.
Joseph Ssewava Mukasa ng'ayogera
Obubaka buno Museveni abutise Omubaka we ow’enjawulo avunanyizibwa ku nsonga za Buganda, Joseph Ssewava Mukasa okubutuusa eri Abakulira emituba gy’Abalangira ba Buganda wamu ne ba Nnaalinnya baasisinkanidde mu Kigango kyabwe ekisangibwa ku luguudo Balintuma mu Kampala.
Ssewava asoose kukwasa Ssentebe w’Abemituba mu Lulyo Olulangira, Omulangira Alex Kawuwa manifesito ya NRM wamu n’ekitabo ekyawandiikibwa Museveni ekiyitibwa Sowing The Mastard Seed bagoberere byonna ebigenda okukolebwa singa addamu n’awangula Obwapulezidenti bwatyo neyeyama okwongera okukwatagana nabo okukola ku nsonga ezibanyiga.

Abalangira nga bali munsinsinako ne Ssaava
Wiiki ejja Pulezidenti Museveni agenda kutandika okusaba akalulu mu Kampala nga wakutandikira mu kitundu ky’e Lubaga ku lwa Mmande January 5,2026 era Ssewava asabye abalangira bajje mu bungi okwaniriza Pulezidenti mu kitundu kino.
Ssentebe w’Abakulu b’emituba mu Lulyo Olulangira, Alex Kawuwa asabye olukiiko oluli ku mulimu gw’okunoonyeza Museveni akalulu okwanguyako okukola ku bikola byebabasaba nabo basobole okutandika okumukuyegera obululu eyo ku byalo n’emitala gyebakulembera.
Kawuwa era asabye Ssewava ayongere okujjukiza Pulezidenti Museveni ku bisuubizo byazze akola eri Abalangira okuli okukola ku byapa n’okuzimba buggya ekigango ky’Abalangira ba Buganda, okuddabiriza n’okuzimba amasiro ga Bassekabaka agali mu mbeera embi, okuwa abazzukkulu mu Lulyo emirimu n’ebirala bingi.

Joseph Ssewava Mukasa ng'ali mu kifaananyi eky'awamu n'Abalangira
Omumbejja Caroline Nassolo ng’ono muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’abakadde ng’awerekedde ku Ssewava asabye Abalangira ne Bannalinya okuteekamu amaanyi okukuuma ebyo ebituukiddwako.
Abakulu b’emituba saako ne Bannalinya b’amasiro ag’enjawulo bategezezza nga bwebalina abantu abalala bangi ababali emabega era omulimu gw’okusaggulira Museveni akalulu bagenda kugwongeramu amaanyi mu nnaku zino ezisigaddeyo okutuuka ku kulonda nga January 15,2026