Amawulire

Abakyala ba Single Mothers mu Lubaga beebugira kwaniriza Pulezidenti Museveni nga 5 Jan

Abakyala ba "Single mothers" abaaddukanya amaka ku lwabwe nga tebalina baami balaze amaanyi mu kwetegekera okwaniriza pulezidenti Museveni agenda okukyala e Lubaga ku mmande okuwenja akalulu k'obwa pulezidenti. 

Abakyala ba Single Mothers nga bawaga okuyiira Museveni obululu
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

Abakyala ba "Single mothers" abaaddukanya amaka ku lwabwe nga tebalina baami balaze amaanyi mu kwetegekera okwaniriza pulezidenti Museveni agenda okukyala e Lubaga ku mmande okuwenja akalulu k'obwa pulezidenti.

Christine Mbabazi Umuhoza Akulira ekibiina Kya "Bambi Yamba Maama" ekya ba single Mothers

Christine Mbabazi Umuhoza Akulira ekibiina Kya "Bambi Yamba Maama" ekya ba single Mothers

Bano abeegattira mu kibiina kyabwe ekya "Bambi Yamba maama"  ekikulirwa Christine Umuhoza Mbabazi eyali muninkini weeyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga  omugenzi Felix Kaweesa, leero bakungaanye okutema empenda ku ngeri  y'okwanirizaamu pulezidenti Museveni mu maanyi ku mmande nga 5 January lwagenda omukyala e Lubaga ku ssomero lya Kitebi SS okukuba kampeyini emuzza ku bwa pulezidenti ekisanja ekijja.

Abakyala ba single mother's nga beetegekera okwaniriza pulezidenti Museveni ku mmande

Abakyala ba single mother's nga beetegekera okwaniriza pulezidenti Museveni ku mmande

Abakyala bano balaajanye nga bagamba nabo baagala okwogerako ne pulezidenti Museveni amanye ebizibu byabwe nti kubanga abantu bangi omuli; ba malaaya, ba makanika n'abantu ab'enjawulo bayambiddwa naye ate bbo abakyala abayimirizaawo amaka n'okukuza abaana ku lwabwe nebalekebwa emabega.

Mbabazi agamba nti, baatandikawo ekibiina kino okuyambako ku ba maama bano, kuba naye ye mbeera mwatambulira amanyi bulungi obuzibu bwebayitamu, ekibiina kirimu  ba memba abasoba mu 20,000 okwetoloola eggwanga lyonna.
Agamba abakyala bano balina emirimu emitonotono okubezaawo amaka gaabwe, naye nga baagala okuyambibwako bongere okugaziwa.

Christine Umuhoza Mbabazi Akulira ekibiina Kya "Bambi Yamba maama" ekya ba single Mother's

Christine Umuhoza Mbabazi Akulira ekibiina Kya "Bambi Yamba maama" ekya ba single Mother's

Agamba abantu bangi abatandise okwerimbika mu kibiina kyabwe baasobole okufunirako ssente ew'omukulembeze w'eggwanga, naasaba bayambibwe okufuna obwenkanya kuba ba maama bano bangi ate bayita mu kusomoozebwa kungi.
 Asabye ba maama bonna weebali okulonda pulezidenti Museveni nti ye yekka asobola okutegeera obuzibu bwabwe nabakwatirako naddala kati nga bafunye eddoboozi eryawamu.
Abakyala bano mu Kampala  nabo balaajanye nebasaba pulezidenti abawulirize ensonga zaabwe.  Nebasuubiza okumuyiira obululu mu kulonda kuno awangulire waggulu ddala.