Ekibiina kya National Unity platform kirangiridde nga bwe kigenda okusimba emabega wa Emmanuel Matovu Magoola oluvannyuma lwa kkooti okusazaamu omuyimbi Mathias Walukagga eyali akwatidde ekibiina bendera.
Bino byogeddwa omwogezi w'ekibiina era akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi bw’abadde ayogerako eri abawagizi baabwe ku kyalo Karengeera mu Town council y’e Kisoga mu disitulikiti ey’e Mukono mu kunoonyeza abavuganya ku bifo by'obukabaka okuli Robert Maseruka owa Mukono South ne Sheilah Amaniyo omubaka omukazi owa Mukono.
Ssenyonyi ategeezazza nti Walukagga ekibiina gwe kyali kiwadde bendera ku kifo ky'omubaka wa Busiro East wabula waliwo abantu abakemekererwa emmeeme ne bamuwaawabira ne bagamba nti teyasoma kkooti n’emusazaamu obutalabikira ku kakonge.
“Naye omukulembeze waffe Walukagga yagambye nti awakula ennume tewakula emu era yatugambye nti alinayo kyali waffe bulijjo gwakolagana naye obulungi munnankyukyuka munnaffe, mmemba munnaffe Emmanuel Matovu Magoola era katinkati awo wetusonga Bannabusiro ndowooza awo mukitegeddd.
Kinnajjukirwa nti ku ntandikwa ya wiiki eno Walukagga yatuuza olukung’aana lwa bannamawulire ku wooteeri ya Das Barliner e Bulange n’asaba abawagizi be okusimba emabega wa Magoola.
Kyokka Kyagulanyi bwe yali anoonyeza omubaka wa Mawokota South Hillary Kiyaga akalululu omwezi oguwedde yategeeza nti Walukagga ye mubaka waabwe gwe bamanyi owa Busiro East.
Bo abakulembeze nga bakulembeddwa Maseruka balopedde Kyagulanyi ebibasoomooza okuli ebbula lya masannyalaze, okugobaganya abavubi ku nnyanja, ebbula ly’emirimu n’ebirala.
Oluvannyuma bano batonedde Kyagulanyi ebirabo eby'enjawulo okubadde empuuta, enkoko, eryato n'enkasi.