Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumye leero nga January 13, 2026, ekisaasaanidde emikutu gy’ebyempulizaganya gyonna , ekitongole kya UCC kiraze nti bagenda kuggyako yintaneeti yonna ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo olwaleero, kisobozese okulonda okutambula obulungi nga tewali kutaataaganyizibwa.

Ekiwandiiko ekisaasaanye wonna.
Emikutu emirala egisuubirwa okuvaako kuliko Whatsapp, facebook, X, leediyo, yintaneeti ya statellite, vidiyo ez’okumitimbagano, ‘wireless internet’ n’ebirala byonna ebyebungulula ku nkozesa y’emitimbagano.(Yintaneeti).
Kino kiraga nga kiteereddwako omukono akulira ekitongole kino, Nyombi Thembo era kitandika kukola ku ssaawa 12:ez'akawungeezi.